Eddwaaliro ly’e Buwenge: Waadi y’abazadde efunze, abamu babeebasa ku seminti
Jul 19, 2023
BW’OYINGIRA mu waadi ya bannakawere mu ddwaaliro lya Buwenge General Hospital osoberwa.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
BW’OYINGIRA mu waadi ya bannakawere mu ddwaaliro lya Buwenge General Hospital osoberwa.
Ebitanda biri kumukumu era bijjudde, kyokka waliwo olumu lw’osanga abeebase wansi ku seminti.
Abatuuze mu disitulikiti y’e Jinja kwe kulaajanira gavumenti ebagaziyize mateneti ku ddwaaliro lino.
Eddwaaliro lisangibwa mu ggombolola y’e Buwenge ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kamuli. Lye likola ng’erya disitulikiti yonna mu kitundu.
Okulaajana kw’ab’e Jinja baakutuusizza n’ew’omubaka omukazi Loy Katali bwe yabadde akwasa eddwaaliro lino ebyuma ebibalirirwamu obukadde 160 bye yasase okuva mu bazirakisa ab’ekkanisa ya Church of Jesus Christ of the Latter-Day Saints.
Muno mwabaddemu ekyuma kya Scan. Ekibaddewo kyafa emyezi munaana (8) egiyise.
Ebirala kwabaddeko firiigi mwe batereka omusaayi, ebyuma ebiyamba abaana abazaalibwa nga tebannatuuka n’abalwadde kamuli, ebitanda 10 n’emifaliso gyakwo.
Olwabakwasizza ebintu bino, avunaanyizibwa ku kuddukanya eddwaaliro lino (Senior Hospital Administrator) Birali Muwabe n’ategeeza nti abakazi abazaala basula wansi olw’obufunda bwa mateneti.
Yadde ekisenge kino kirimu ebitanda munaana byoka, eddwaaliro liyingiza abakazi abali wakati wa 15 ku 20 buli lunaku.
Yagambye nti omukisa gw’okuweebwa ekitanda basooka kuguwa abalongooseddwa.
Olwo abazadde obulungi kyokka nga beetaaga okubalondoola ne babasuza wansi.
“Waliwo bamaama abazaala nga balinamu omusujja oba abaana, bano tubasigaza naye basula wansi,” Muwabe bwe yattottodde.
Kkansala Samuel Akalyamaawa (Buyengo) yategeezezza nti bajeti y’eddwaaliro lino ntono yeetaaga okwongerwako.
RDC wa Jinja, Richard Gulume yalaze obwennyamivu olw’enjatika eziri mu bizimbe by’eddwaaliro kyokka nga terinnaweza myaka 10 n’akiteeka ku bulyake nga disitulikiti egaba ttenda.
Ye Moses Mbiro, okuva mu kkanisa eyagabye obuyambi buno yagambye nti tebalina bukwakkulizo ku byuma ebyaleeteddwa wabula yabasabye babikwate bulungi.
No Comment