Kabaka akoze enkyukakyuka mu baminisita be
Aug 01, 2023
KABAKA asiimye n’akola enkyukakyuka mu Kabineeti ye wamu ne mu bukulembeze mu kitongole ky’ettaka ki Buganda Land Board.

NewVision Reporter
@NewVision
KABAKA asiimye n’akola enkyukakyuka mu Kabineeti ye wamu ne mu bukulembeze mu kitongole ky’ettaka ki Buganda Land Board.
Kabineeti empya erondeddwa y’eno;-
Charles Peter Mayiga asigadde ye Katikkiro wa Buganda ng’amyukibwa Polof.Twaha Kigongo Kaawaase ng’Omumyuka Asooka owa Katikkiro era Minisita Avunaanyizibwa ku Nzirukanya y’Emirimu ne Tekinologiya.
Robert Waggwa Nsibirwa ye Mumyuka Owookubiri owa Katikkiro, Omuwanika era Minisita w’Okuteekateeka Ebyenfuna n’Obusizi bw’Ensimbi.
Patrick Luwaga Mugumbule ye Mukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda ng’amyukibwa Hajj Ahmed Lwasa.
Christopher Bwanika ye Ssaabawolereza wa Buganda.
Noah Kiyimba ye Minisita wa Kabineeti, Olukiiko, Abagenyi n’Ensonga ez’Enjawulo mu Woofiisi ya Katikkiro.
David F.K. Mpanga ye Minisita w’Ettaka n’Ebizimbe ng’ono abadde Minisita w’ensonga z’enkizo ekifo ekiggyiddwawo.
Cotilda Nakate Kikomeko Minisita w’Enkulaakulana y’Abantu ( ezingiramu ebyanjigiriza; eby’obulamu) n’Ensonga za Woofiisi ya Nnaabagereka.
Joseph Kawuki kati ye Minisita omujjuvu owa Gavumenti ez’Ebitundu; Okulambula kwa Kabaka; n’Ensonga z’Abantu ba Buganda Ebweru.
Mariam Nkalubo Mayanja ye Minisita wa Bulungibwansi; Obutonde bw’Ensi; Amazzi n’Ekikula ky’Abantu.
Hajj Amiisi Kakomo Mukasa ye Minisita w’Obulimi; Obwegassi, Obusuubuzi n’Obuvubi.
Israel Kazibwe Minisita w’Amawulire; Okukunga Abantu; era Omwogezi w’Obwakabaka. Ono abadde om uku bakiise b’abavubuka mu Lukiiko lwa Buganda olukulu.
Anthony Wamala ono ye Minisita w’Obuwangwa; Embiri; Amasiro; Obulambuzi n’Ebyokwerinda. Abadde akulira Buganda Royal Institute ng’azze mu bigere bya David Kyewalabye Male eyasaba Kabaka awummule.
Robert Sserwanga ye Minisita w’Abavubuka; Emizannyo n’Ebitone. Ono ye Katikkiro w’ekika kya Ngaali.
Enkyukakyuka zino zirangiriddwa Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ng'era ategezezza nti zitandikiddewo okukola.
No Comment