Abazigu basse abakuumi b'essundiro ly'amafuta 2 ne banyagulula abakozi baalyo
May 01, 2025
ABATEMU bakakkanye ku bakuumi b'essundiro ly'amafuta babiri ne babatta, oluvannyuma ne banyagulula abakozi ku mudumu gw'emmundu.

NewVision Reporter
@NewVision
ABATEMU bakakkanye ku bakuumi b'essundiro ly'amafuta babiri ne babatta, oluvannyuma ne banyagulula abakozi ku mudumu gw'emmundu.
Bino , bibadde ku ssundiro ly'amafuta erya Chard Energy Petrol Station ku luguudo lwa Katosi e Mukono, abatemu bwe bakubye Deo Sennabulya 50 ne Joseph Onyaiti 25 ekintu ku mitwe ne bafa.
Oluvannyuma, bababbyeko emmundu omubadde amasasi 5 ,ne bagyeyambisa okubba abakozi b'essundiro eryo Jovita Tess 23 ne Kevin Domanye 22, obukadde 3 n'amasimu.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, agambye nti , emmundu bagisuddewo oluvannyuma ne babulawo . Emirambo gyombi egy'abagenzi, gitwaliddwa mu ggwanika e Mulago ng'okuyigga abatemu kugenda mu maaso.
No Comment