Ababadde baagala okupangisa emmundu ku mujaasi bagende babbe poliisi ebakutte!
Apr 24, 2025
Ronald Ondwa 25 ne Richard Ochen 24 be bakuumirwa ku poliisi y'e Lugazi, ku bigambibwa nti baatuukiridde Ptv Ben Angirio Lochap ow'eggye lya UPDF , nga baagala abapangise emmundu ku bukadde 3 n’emitwalo 90 okugibbisa.

NewVision Reporter
@NewVision
ABAVUBUKA babiri abagambibwa okusendasenda omujaasi w'eggye lya UPDF abapangise emmundu okugibbisa, bakwatiddwa poliisi.
Ronald Ondwa 25 ne Richard Ochen 24 be bakuumirwa ku poliisi y'e Lugazi, ku bigambibwa nti baatuukiridde Ptv Ben Angirio Lochap ow'eggye lya UPDF , nga baagala abapangise emmundu ku bukadde 3 n’emitwalo 90 okugibbisa.
Kigambibwa nti mu kumutuukirira , baamuwaddeko 1,900,000/ nga basuubiza ensimbi endala obukadde bubiri okuzimuwa nga bamaze omupango gwabwe. Kigambibwa nti baabadde bagenda kubba omusuubuzi Omuyindi atunda Sukaali ne butto.
Ensonda ku poliisi e Lugazi, zitegeezezza nti , omujaasi naye yabasabye okuyingira munda mu ditaaki asobole emmundu okuggibaweera omwo , era ng'eyo gye baabakwatidde ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.
No Comment