Owa Daawa e Kayunga alabudde Abasiraamu ku njawukana

Apr 24, 2025

AKULIRA Daawa e Kayunga era era omuwandiisi w’ensonga z’eddiini mu Greater Mukono, Sheikh Mugwanya Abudu Magidu akuutidde Abasiraamu bave mu kuneneng’ana kubanga kino  kibatoolako butoozi mu kifo ky’okubagattako.

NewVision Reporter
@NewVision

AKULIRA Daawa e Kayunga era era omuwandiisi w’ensonga z’eddiini mu Greater Mukono, Sheikh Mugwanya Abudu Magidu akuutidde Abasiraamu bave mu kuneneng’ana kubanga kino  kibatoolako butoozi mu kifo ky’okubagattako.
Sheikh Mugwanya agambye nti Abasiraamu bakulembeza nnyo enjawukana okusinga okukkaanya era nga kino kibasubizza bingi n’okubakuumira emabega.
Sheikh Mugwanya bino yabyogeredde Lukonda mu ggombolola y’e Kayonza mu disitulikiti y’e Kayunga, Abasiraamu we baakung’aanidde mu dduwa
y’omugenzi Nnaalongo Zamu Musenero. Sheikh Mugwanya yasoomoozezza Abasiraamu abali mu bifo by’obukulembeze nti balabire ku ddiini endala engeri gye zikyusa abakulembeze awatali kukaayana.
Abakubirizza okukola ennyo beegobeko obwavu era bagondere abakulembeze aba gavumenti, ab’eddiini n’abeebika byabwe. Omukungu
mu ofiisi ya Daawa, Sheikh Sarif Hifute yeebazizza Sheikh Mugwanya olw’okusomesanga Abasiraamu n’okuwagira enteekateeka ez’enjawulo.

Related Articles

No Comment

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});