Amawulire

Omulamuzi awadde ebiragiro ku DNA ya Pasita Male ne Mabiriizi

KKOOTI Enkulu e Mukono ewadde pasita Solomon Male ne looya Hassan Male Mabiriizi ebiragiro ebipya kw’egenda okusinziira ng’esala omusango gw’okujulira okubakebera endagabutonde (DNA).

Pasita Male ne Mabiriizi.jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Alice Namutebi

KKOOTI Enkulu e Mukono ewadde pasita Solomon Male ne looya Hassan Male Mabiriizi ebiragiro ebipya kw’egenda okusinziira ng’esala omusango gw’okujulira okubakebera endagabutonde (DNA).

Omulamuzi David Matovu abalagidde nti obujulizi bwonna abwetaaga ku fayiro y’omusango obutasukka nga September 5, 2023 olwo abawe ensala nga October 5, 2023 mu kujulira okw’emirundi ebiri kwe baateekayo.

Pasita Male yatya okukeberwa DNA abooluganda bonna 17 nga looya Mabiriizi bwe yasaba okuzuula oba nga balina oluganda lw’omusaayi ne Male Mabiriizi.

Alumiriza nti kitaawe, omugenzi Hajji Muhammad Bazinduse Lulibedda Mutumba eyabeeranga e Wakaliga-Lubaga si ye yali azaala Mabiriizi nga kino kyeyoleka mu
kiraamo kye kubanga teyamuteeka mu baana b’azaala.

Male agamba nti tewali bujulizi businga kiraamo ky’omugenzi era okubatwala ku DNA ku mpaka kuba kulinnyirira ddembe lyabwe kubanga bo bantu bakulu abeesalirawo.

Mabiriizi yaloopa baganda be mu kkooti ng’agamba nti bamuboola nti si muganda waabwe era bamugoba n’awaka ng’ate akimanyi bulungi nti omugenzi Bazinduse
ye yali amuzaala kubanga n’ebbaluwa ye ey’obuzaale eraga nti omugenzi ye kitaawe.

Mabiriizi yasaba kkooti nti okuggyawo okusika omuguwa, omulambo gwa kitaawe guziikulwe, baguggyeko akagumba ke baba bakozesa okukebera endagabutonde,
abeeyita abaana b’omugenzi Bazinduse bonna bategeerekeke kuba naye teyeekakasa obanga omugenzi ye yali azaala baganda be abamu nga pasita Male.

Omulamuzi wa kkooti ento e Mukono, Paul Matyama yakkiriza eky’abaana b’omugenzi bonna okutwalibwa ku ndagabutonde wabula n’agaana eky’okuziikula omugenzi kubanga yafa bulwadde bwa COVID 19.

Wano okujulira we kuva nga pasita Male awakanya eky’okumutwala ku DNA ate
Mabiriizi ye akiwagira naye agamba nti balina kusooka kufuna ggumba lya kitaawe,
abakugu bakebere abaana bonna nga baligeraageranyaako.

Omugenzi Bazinduse yaleka ebyobugagga ebiri mu buwumbi omuli ettaka e Lubaga,
Nateete ne Kamwokya nga ku byonna Mabiriizi tewali kye yagabanako.

Tags:
Omulamuzi
Pasita Male
Mabiriizi