Amawulire

Dr. Rashid Lukwago akwatiddwa ku by'okubuzaabuza abalwadde

EKITONGOLE ekikola ku mutindo gw’eddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority (NDA) kikutte Dokita Ashraf Rashid Lukwago atunda n’okujjanjabisa eddagala ly’ekinnansi nga kigambibwa nti abuzaabuza abalwadde abagendayo ku bika by’eddagala ly’abawa.

Dr. Rashid Lukwago akwatiddwa ku by'okubuzaabuza abalwadde
By: Hannington Nkalubo, Journalists @New Vision

EKITONGOLE ekikola ku mutindo gw’eddagala mu ggwanga ekya National Drug Authority (NDA) kikutte Dokita Ashraf Rashid Lukwago atunda n’okujjanjabisa eddagala ly’ekinnansi nga kigambibwa nti abuzaabuza abalwadde abagendayo ku bika by’eddagala ly’abawa.

Abakulira ekitongole kino bamaze ebbanga nga basudde enkessi mu bulwaliro obujjanjabisa eddagala ly’ekinnansi, era eggulo (Lwakusatu) aba NDA nga bali wamu ne poliisi baazinze akalwaliro ka Lukwago aka Mukama Talemwa Herbal Clinic akasangibwa e Kawempe ne bamukwata nga bagamba nti akalwaliro ke kalina bingi ebitatuukana na mutindo.

Omu ku bakozi ba NDA, Abias Rwamwiri, yagambye nti babadde bamaze wiiki nnamba nga baketta akalwaliro kano nga beeyambisa abantu ababadde bafuna obujjanjabi okuva mu kalwaliro kano.

Mu kunoonyereza baazudde nti, abamu ku balwadde babuzaabuzibwa ku bubaka bwe babawa obukwata ku ndwadde eziba zibaluma n’ebika by’eddaggala bye babawa okubawonya.

Yagambye nti n’engeri Dr. Lukwago n’abamu ku bantu be gye bajjanjabamu abalwadde abagendayo erimu obutali bulambulukufu.

Rwamwiri yategeezezza nti Dr. Lukwago baabadde bakyamulina ku kalwaliro ke nga bakyamukunya abalage buli kimu ky’alina mu ddwaaliro. Aba NDA baalangirira dda okukola ebikwekweto mu ggwanga ku bulwaliro n’obuduuka obutunda eddagala era bazze bakunya n’okuzuula abeeyita abasawo naye nga tebalina biwandiiko.

Tags:
Amawulire
Dr. Lukwago