Kapa Cat azzeemu okulumba Gravity: 'Amala googera tasengejja mu bigambo bye'

Sep 01, 2023

Olutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso wakati wa Gravity Omutujju ne Kapa Cat lulabika si lwakuggwa kati!

NewVision Reporter
@NewVision

Olutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso wakati wa Gravity Omutujju ne Kapa Cat lulabika si lwakuggwa kati!

Mu mboozi ey’akafubo ne ttivvi emu, Kapa Cat yalaze endowooza ye nti Gravity Omutujju ng'omuntu amala googera nga tasengejjezza mu bigambo bye n'agamba nti bingi by'ayogera nga tasoose kulowooza na kufumittiriza.

"Gravity Omutujju byamusobako. Agamba nti Sheebah asinga Cindy Sanyu, kyokka bwe yayagala okukola kolabo y'oluyimba ate yaddukira wa Cindy mu kifo kya Sheebah," Kkapa Cat bwe yategeezezza.

Kapa Cat agamba nti singa Gravity yali akkiriza nti Sheebah y'asinga gwe yandisabye kolabo mu kifo kya Cindy.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});