Isaiah Katumwa asambazze eby'omukazi okumutwala mu America

May 01, 2025

Okutuuka ku kino asoose kubuuzibwa munnamawulire omu ng’amugamba nti waliwo ebyasaasaana nti okugenda mu America omukazi weeyo yasooka kumusaba agende

NewVision Reporter
@NewVision

ISAIAH Katumwa Ono eyatonnye ku kisaawe Entebbe eggulo ku makya okuva mu America gy’amaze emyaka yategeezezza nti mu America yagendayo kwongera ku myuziki we ssi bya bakyala.

Okutuuka ku kino asoose kubuuzibwa munnamawulire omu ng’amugamba nti waliwo ebyasaasaana nti okugenda mu America omukazi weeyo yasooka kumusaba agende babeere bombi nti kubanga yali akooye okusula obwomu nti era ssente zonna ye yazimussaamu okugendayo.

 

Katumwa yabyegaanye ng’agamba nti ye ye yasookayo mukyala we oluvannyuma n’amuleeta nga ebyogerwa nti omukazi yamusookayo n’amussaamu ssente bya matu ga mbuzi.

Agambye nti ebintu bingi byayize mu America ebyekuusa ku myuziki nga yandiyagadde okukomawo kuno ayambeko ku bayimbi ba wano.

Yeegaanye n’ekyokuba nti akuba ekyeyo, yagambye nti ye aliyo lwa myuziki yekka kubanga yakitegeera nti singa weeteeka mu bintu by’okukola oba okunoonya omulimu omaliriza obulamu bwayo bukukutte era n’okuba ekyeyo.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});