JOSEPH Kiboneka 31, ng’akola bwa bbulooka, Henry Wasswa Ssemakula 31, nga mulimi, Pius Nsamba 36 naye mulimi, Nicholas Ssagala 31 akola mirimu gya lejjalejja, ne Wycliff Ssenyonga 31 nga bonna batuuze b’e Nakabugo- Bbira mu Wakiso.
Bonna basimbiddwa mu kkooti ya magye e Makindye ne bavunaanibwa emisango ebiri egy’okubeera n’ebintu bya UPDF mu bukyamu.
Abamu ku bawawaabirwa nga bali mu kkooti.
Emisango gibasomeddwa ssentebe wa kkooti Brig Gen Freeman Robert Mugabe era bonna ne bagyegaana.
Oludda oluwaabi lugamba nti nga July 24, 2023 abawawaabirwa nga bali ku kyalo Nakabugo- Bbira mu Wakiso baalina ekyambalo kya UPDF ekyamadowadowa ng’eno emanyiddwa nti yabamukwatammundu aba UPDF. Bano baali tebalina lukusa kubeera nayo.
Era kigambibwa nti baalina amasasi abiri (2) ag’emmundu ekika kya SMG n’eddala limu erya pisito nga byonna bimanyiddwa nti bya bamukwata mmundu b’eggwanga , ng’ate bano bantu baabulijjo.
Pte. Anthony Olupot ku lw’oludda oluwaabi yasabye kkooti bano batwalibwe mu kkomera okutuusa nga September 24, 2023 lwe banadda okuwulira okunoonyereza we kunaaba kutuuse. Batwaliddwa mu kkomera okutuusa ku olwo.