ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akalondoola ensasaanya y’omuwi w’omussolo bewuunyiza okuba nga eddwaliro lya Soroti eriwereza abantu abali mu bukadde 2 n’emitwalo 2 okuva mu zi disitulikiti mukaaga, eggwanika lyalyo lya mirambo ebiri gyokka .
Bino bitegezeddwa akulira eddwaliro lino Dr. Ben Watmon bwabadde alabiseeko mu kakiiko kano okwanukula okwemulugunya okweyoleka mu alipoota ya ssaababalirizi b’ebitabo bya gavumenti y’omwaka gw’eby’ensimbi 2023/24 oluvanyuma lw’ababaka okumubuuza ku mbeera eri ku ddwaliro okutwaliza awamu.
Omubaka wa munisipaali Y’e Kumi Silas Aogon agambye nti abantu mu Soroti batandiika enkola y’okutereka emirambo nga baziika ku wiikendi olwo ennaku endala nebakola emirimu nabuuza oba nga ku bungi bw’abantu bano waliwo ekifo ekimala okukuuma emirambo gy’abafiira ku ddwaliro mu wiiki.
Omubaka wa Kasiro Elijjah Okupa agambye nti olw’ebbula ly’ekifo ekimala, abanti besingaana nga balina okweyambisa eggwanika lya UPDF ery’okusasulira ate nga liri kilo mita bbiri okuva ku ddwaliro.
Watmon agambye nti kituufu kati myaka 82 bukyanga eggwanika litekebwawo terimala nga balina okulemerera ku b’enganda okutwala abantu babwe amangu ddala nga bavudde mu bulamu bwensi.