Chamili awaanye mutoowe Pallaso: 'Gwe muyimbi asinga mu Uganda yonna'
Sep 06, 2023
Pius Mayanja amanyiddwa nga Pallaso mu kisaawe ky’okuyimba, yakuzizza amazaalibwa ge ag’emyaka 36 ku mukolo ogwabadde mu bbaala ya Vegas Chillout Bar and Lounge e Kawempe.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalist @NewVision
Pius Mayanja amanyiddwa nga Pallaso mu kisaawe ky’okuyimba, yakuzizza amazaalibwa ge ag’emyaka 36 ku mukolo ogwabadde mu bbaala ya Vegas Chillout Bar and Lounge e Kawempe.
Omukolo guno gwagasse abayimbi abamanyiddwa abawerako okuli Jowy Landa, Green Daddy, Evelyn MC, Mimi (mukyala wa Pallaso), wamu ne baganda be nabo abayimbi Jose Chameleone ne Weasel eyazze ne mukyala we Sandra Teta.
Mu kujaguza kuno, Jose Chameleone yakozesezza omukisa guno n’asiima Pallaso n’alaga olw'amaanyi n'ettoffaali ly'atadde mu myusiki era n'alaga obutali bumativu eri abo abazalawa mutoowe.
“Pallaso, ka mbuulire bino, wadde nga ndi mukulu wo ate era ndi muyimbi, naye njagala nnyo myusiki wo, nkwegomba. Gwe muyimbi asinga mu Uganda. Osaana kuwaanibwa kuba myusiki wo ali origino wa ddala. Ennyimba zo omuli; Ani Oyo, Malamu n’ennyimba endala nnungi nnyo era zamaanyi,” Chameleone bwe yategeezezza.
No Comment