Eyanoonyereza ku misango gya Dr.Kiyingi alaze engeri bamafia gye batwala emmaali ye yonna
Oct 03, 2023
OMUKUGU mu by’okunoonyereza ku misango mu ggwanga, Fred Egesa alaze engeri bamafia gye banyaga emmaali ya Dr. Aggrey Kiyingi ne bamukaliza obutasigaza kantu mu Uganda.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Ponsiano Nsimbi
OMUKUGU mu by’okunoonyereza ku misango mu ggwanga, Fred Egesa alaze engeri bamafia gye banyaga emmaali ya Dr. Aggrey Kiyingi ne bamukaliza obutasigaza kantu mu Uganda.
Egesa yategeezezza Bukedde nti ebizibu ebyatuusa Dr.Kiyingi mu mbeera eno byatandikira ku misango egyamuggulwako gavumenti nga bamulumirizza okunyigira mu lukwe lw’okutta mukyala we Robinah Kiyingi eyakubwa amasasi ku ggeeti y'a maka gaabwe e Buziga mu Kampala mu 2005.
Yagambye nti Dr. Kiyingi bwe yali mu kkomera ku misango egyali gimugguddwaako gavumenti egy’ekuusa ku by’okutta mukyala we Robinah Kiyingi, waliwo omukyala Jackline Diana Asiimwe eyamuggulako emisango ng’alumirizza nti yali amubanja ssente obukadde 70 ez’ebbanja lya sementi agambibwa nti yali amuwadde kkampuni ye eya Dehezi International. Mbu kuno kwaliko ssementi (White Cement) ensawo 1750 ze yamuguza bwe yali akyali mu kkomera e Luzira.
Wabula agamba nti mu kunoonyereza okwakolebwa poliisi naye kwe yakola baalemwa okuzuula omuntu ayitibwa Asiimwe era olw’okuba Dr. Kiyingi yali amuwadde obuyinza okumuwolerezza mu musango guno yajulira kyokka kkooti n'egenda mu maaso n’okuyisa ekiragiro ky’okutunda emmaali ya Dr. Kiyingi.
Egesa yannyonnyodde nti okuyingira mu nsonga zino yatuukirirwa omu ku mikwano gya Dr.Kiyingi eyali amaze okunoonyereza ku mirimu gy'akola nga ye yamuyunga ku Dr. Kiyingi era yamala emyaka musanvu ng’anoonyereza era ng’awoza omusango guno okutuusa bamafia abeerimbika mu linnya lya gavumenti bwe beeyambisa kkooti ne batwala emmaali ya Dr.Kiyingi.
Dr. Kiyingi N’omukyala Nakayiira N’abaana Baabwe Gye Buvuddeko.
Yagambye nti oluvannyuma lw’okumanya nti bamafia baali bamaliridde okwezza emmaali ya Dr. Kiyingi yawandiikira gavumenti ng’agisaba okuddamu okwetegereza ensonga zino ekitaakolebwa ky'agamba nti kyavaako bannakigwanyizi okwerimbika mu gavumenti ne batandika okuyunga ku Dr. Kiyingi ebigambo nti yali avugirira abayeekera okumaamulako gavumenti ne batuuka n’okumulemesa okudda kuno okulwanirira ebintu bye okutuusa lw'afudde.
Yagambye nti Dr. Kiyingi yalina pulaani z’okuzimba kuno eddwaaliro erijjanjaba abalwadde b’emitima kyokka enteekateeka ezo zonna zaazingama olw’embeera eyamuteekebwako.
Mu kunoonyereza okwakolebwa poliisi ne Egesa baakizula nti ebiwandiiko ebyaliko omukono ogugambibwa okubeera ogwa Dr. Kiyingi baakizuula nti byali bijingirire nga n’ekiseera we byakolebwa Dr. Kiyingi yali mu kkomera.
Abaatwala ebintu bya Dr. Kiyingi kigambibwa nti beesigama ku nsala ya kkooti eyamulagira okuliwa ssente ezisoba mu bukadde 100 kyokka bano ne bakozesa olukukujju okutwala ebintu bye byonna okwali amaka ge n’ettaka ery’ebbeeyi mu bitundu eby'enjawulo.
Mu mpaaba ya Asiimwe yategeeza nga bwe yali yaguza Dr.Kiyingi sementi ono mu kiseera bwe yabeerera mu kkomera ze yalina okusasula obutasukka October ,16,2006.
OBUGAGGA BWA KIYINGI BWE YALINA
- Kkampuni ya Dehezi International
- Ennyumba galikoleka eri ku yiika biri e Buziga
- Ettaka yiika nnamba ewa Kiseka
- Ettak yiika biri e Buziga
- Ettaka ku poloti 48 Bbulooko 273, poloti141/142, bbuloko273 poloti35 bbulooko273.
- Ettaka eddala e Namulonge gy'azaalibwa ku poloti 18, bbuloko158, poloti23, bbulooko158B, poloti 25 bbulooko158B ne poloti 27 bbulooko 158B
- Yalina ettaka e Buziga eryaguzibwa Amdan Khana ow'e Kasese ku buwumbi 2.2 okusinziira ku ndagaano eyakolebwa.
- Ettaka lya mirundi mukaaga ng’eryemirundi esatu lisangibwa Buziga.
No Comment