DR. KIYINGI;Omulambo gwe Gavt. ya Australia egutaddeko akakiiko
Oct 05, 2023
GAVUMENTI ya Australia, etaddewo abakugu mu kunoonyereza n’okwekebejja omulambo gwa Dr. Aggrey Kiyingi okuzuula ekituufu ekyamusse.

NewVision Reporter
@NewVision
GAVUMENTI ya Australia, etaddewo abakugu mu kunoonyereza n’okwekebejja omulambo gwa Dr. Aggrey Kiyingi okuzuula ekituufu ekyamusse.
Kiyingi, 68, abadde kafulu mu kujjanjaba emitima, era nga yeebuuzibwaako n’ebiremye
Abazungu era w’afiiridde ng’abamu ku balwadde be mulimu bapulezidenti, ba Katikkiro b’amawanga, ba Kabaka bannaggagga ne bassereebu mu nsi ezenjawulo.
Enfa ya Kiyingi ey’ekibwatukira yalese ebibuuzo mu Bannayuganda ne mu Australia oluvannyuma lwa mukyala we Mayimuna Nakayiira Kiyingi okutegeeza nti bba tabadde
mulwadde.
Mu nkola ya Australia n’amawanga amalala, omuntu bw’afa mu ngeri etankanibwa, ensonga zitwalibwa mu kkooti era eya Australia eyitibwa Coroner’s Court, esangibwa mu kibuga Sydney.
Eno ye kkooti omutwalibwa okwemulugunya singa wabaawo omuntu afudde nga ekimusse kitankanibwa.
Enkola eno, eyitibwamu n’ekigendererwa eky’okuleetawo obwenkanya mu ba ffamire
y’omugenzi.
Omu ku ba ffamire ya Kiyingi ataayagadde kumwatuukiriza mannya yategeezezza Bukedde, nti Katikkiro wa Australia, yayingidde dda mu nsonga eno era n’abakakasa nti okunoonyereza kwatandise dda.
Kyaddiridde omu ku nfanfe wa Kiyingi, okuvaayo n’ategeeza nti ennaku nnya omugenzi nga tannafa, baali bonna kyokka nga talina wamuluma. Wabula gavumenti ya Australia, teyayasanguzizza bitongole byaweereddwa mulimu gwa kunoonyereza ku nfa ya Kiyingi wabula nga kyategeezeddwa nti biri ku mutindo gwa nsi yonna. Nnamwandu, Mayimuna Nakayiira, yannyonnyodde nti, bba bwe yavudde ku mulimu n’amukulisaayo, yali musanyufu nnyo nga bulijjo.
Bwe yamala okumuwa ekyokunywa n’ekyokulya, n’abaako we yamusindika abeeko
by’amugulirayo era yamuleka mu ddiiro nga azannya n’abaana baabwe okuli ow’emyaka 10 n’omuto ow’emyaka omusanvu.
Nnamwandu yagasseeko nti buli bba lw’akomawo awaka, okuva ku mulimu asooka kulya, n’azannya n’abaana okumala eddakiika nga 40.
Yategeezezza nti bwe yabadde ava awaka, yamulese azannya nabo mu ntebe nga bulijjo
bwakola. Yagasseeko nti engeri gy’abadde omusawo w’emitima, abadde atera okusomesa abaana be engeri omutima gye gukubamu n’engeri gye gusobola okusirikamu ne kivaako okufa kw’omuntu.
Yagambye nti yabadde akyali gye yabadde atumiddwa, omwana waabwe omululu kwe ku mukubira essimu n’amugamba nti “Maama, Ddadi yeebase omulundi gumu mu ntebe naye tazuukuka”. Yasoose kulowooza nti basaaga era kyamukubye encukwe okusanga
nga ddala kituufu dokita yabadde amaze okusirika! Omu ku bakulembeze ba Uganda Federal Democratic Organisation, Frank Bbulira, ekibadde kikulemberwa omugenzi,
kiraga nti yafa ku Lwamukaaga nga September 30, 2023
Gavt. ya wano ebadde ekyamuliko ku bya ADF
Wadde nga w’afiiridde yali yatandikawo ekibiina ky’obwannakyewa, ekya
UFDO, n’ekigendererwa eky’okuggyako obukulembeze bwa Pulezidenti Yoweri Museveni, Kiyingi azze yeegaana ebimwogerwako gavumenti nti y’omu ku babadde bavujjirira okuttibwa kw’abakulembeze b’Obusiraamu, ng’akolaganira
wamu n’ab’ekibiina ky’abatujju aba Allied Democratic Forces (ADF).
Okuttibwa kw’abakulembeze b’Abasiraamu kwacaaka nnyo mu mwaka gwa 2012.
Aba DP bakungubagidde Dr. Kiyingi ne balangirira ekiddako
ABA DP abeekutula ku bukulembeze bwa pulezidenti w’ekibiina Nobert Mao bakungubagidde Dr. Aggrey Kiyingi ne balangirira ntegeka empya ey’okuddamu
okusaggula bannaabwe bwe baali mu Uganda Young Democrats [ UYD] bakole ebyobufuzi.
Eggulo baatudde ku Speak Hotel mu Kampala nga bakulembeddwa r. Lulume Bayiga ne batongoza okuddamu okwegatta kw’abaaliko mu UYD mu kisinde kye batuumye Union of UYD Alumni .
Dr. Lulume yayogedde ku Dr. Kiyingi ng’eyasooka okuzibula bannansi amaaso nti waliwo ebisobye mu ggwanga era abadde avaayo n’abyogera buli kiseera. Yategeezezza nti yabalaga engeri ebyenfuna by’eggwanga gye bitatambula bulungi era abadde aweereza obubaka buli kiseera .
No Comment