Ab’enganda z’abantu ab’enjawulo abaabuzibwaawo mu biseera by’akalulu bannyonnyodde engeri essuubi gye lyabaweddemu era ne balaga obwennyamivu eri ab’ekitongole ekirwanirira eddembe ly’obuntu okwesuulirayo ogwa nnaggamba n’obutakola kimala okunoonya abantu baabwe okuviira ddala lwe baabuzibwawo.
Bano okuvaayo kiddiridde ab’ekitongole kino okutegeeza eggwanga ng’emisango gy’abantu baabwe abagambibwa okuba nti baabuzibwaawo bwe baagigobye olw’ensonga y’okubulwa obukakafu ku butuufu bw’abantu bano oba nga ddala baaliyo oba nga baali ba mpewo, okussa gavumenti ku nninga olw’ebigendererwa bya bannakibiina kino ebitategeerekeka.
Mariza Nakyanzi, omutuuze ku kyalo Kabembe ekisangibwa mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono ng’ono mwannyina wa Yuda Tadeo Ssempijja omu ku baabuzibwaawo akukkulumidde ab’ekitongole kino n’ategeeza nga bwe baalina okutwala obuvunaanyizibwa okukakasa ensonga eno nga batalaaga mu bitundu eby’enjawulo okwebuuza ku bakulembeze b’ebitundu ebyo naddala bassentebe b’ebyalo okukakasa obutuufu bw’abantu abo okusinga okuteebereza n’okukuba amasimu.

Kagoya N'omwana We Ng'ali Mu Dduuka Waatekenkanyiza, Ono Naye Mukyala Wa Kanatta.
Ono era ategeezezza nti okusalawo kw’ab’ekitongole kino kyasajjudde emitima gy’abantu ababadde bakyalina essuubi ery’okulaba ku bantu baabwe ne baddamu okweraliikirira era nga ye nnyina puleesa zaamukubye nga kati ali ku kitanda ajjanjabwa.
Ye Agnes Nabwire ng’ono y’omu ku bakyala ba Mohammed Kanatta naye eyawambibwa akalaatidde ab’ekitongole kino okuggya omuzannyo mu nsonga zaabwe wabula banoonye abantu baabwe bababaddizibwe era nti baabadde ku ofiisi z'ekitongole kino e Naguru ku Lwokuna okuwaayo ebiwandiiko by’abantu baabwe.
Munnamateeka era omubaka wa Mukono North Abdallah Kiwanuka ategeezezza nga kano bwe kali akakodyo k’ekitongole kino okwesamba eby’okunoonya abantu bano olw’ensonga nti abantu bonna abaabuzibwawo baali baana nzaalwa za ku byalo era nga baali bamanyikiddwa.

Muhammed Kanatta Nga Bw'afaanana.
“Nsaba gavumenti esseewo omutemwa gw’ensimbi ezigenda okweyambisibwa ab’ekitongole ekyo okukola okunoonyereza kwabwe nga batandikira wansi ku byalo okusinga okuwanuuza n’okukola okusalawo kwabwe okwenkomererdde kyokka nga byonna babikolera ku masimu..
Bwe kunaaba kugumba ku ofiisi z’ekitongole kino tujja kugumbawo naye nga batuwadde abantu baffe.”Kiwanuka bw'agambye.