BASSENTEBE ba LC1 mu Kampala balaajanidde Pulezidenti Museveni olw’obutabeera mu tteeka eppya erya KCCA n’okuweebwa ensako ya ssente entono ate nga nazo oluusi tebazifuna.
Bino byabadde mu nsisikano ya Pulezidenti Museveni n’abakulembeze ba LC1, LC2 ne LC3 wamu n’abo abakwatidde NRM bendera ku bifo eby’enjawulo mu Kampala. Baabadde ku ttendekero lya UICT e Nakawa.

Abamu Ku Bakulembeze B'emiruka Pulezidenti Be Yayogedde Nabo.
Baagambye nti buli kizibu ekiri mu Kampala kituukira ku bo naye tebafuna bitundu 25% ng’abakulembeze b’ebyalo abalala bye bafuna wabula bafunayo ssente 10,000/- omwaka kyokka ng’oluusi tezituuka.
Mu kubaanukula, Museveni yabagambye nti ezimu ku nsonga zino abadde tazimanyi wabula agenda kuzitunalamu. Yabanenyezza nga nabo bwe bakola ensobi nga balonda abantu abeenoonyeza, abatasobola kuyita lukuhhaana nga luno. Yabasabye balonde abantu abasobola okumutuukirira.

Museveni Ng'ayogera Eri Abakulembeze B'ebyalo N'emiruka.
Ku nsonga y’okukuuma akalulu ke, yagambye nti agenda kwogera n’abakulembeze mu NRM okulaba nga tebakoonagana ku Lwokuna nga bakalondoola.
N’agamba nti mu myaka 40, gavumenti egasse amatoffaali 7 ku Uganda okuli okuteekawo emirembe, abantu okufuna obugagga, enkulaakulana n’ebirala n’agamba nti kati abantu bali bulungi. Yabasabye n’okwagala eggwanga lyabwe.
Yagambye nti enkulaakulana eyaleetebwa NRM, yazuukusa Bannayuganda era kati bafulumya ebintu omuli ssukaali, kasooli, amata, semiti n’ebirala.
Yagambye nti kati NRM eyagala kufuumuula obwavu mu Bannakampala n’abasaba okwettanira obulimi nga balimira awafunda, okulunda enkoko, okulima obutiko, okulunda embizzi n’abaliraanye entobazi okulunda ebyennyanja n’ebirala