Ssentebe wa NRM e Lubaga, Ivan Majambere Kamuntu Ssemakula, atimbye Kampala yonna kyenvu okwaniriza pulezidenti Museveni ku lukungaana lwe olusembayo e Kololo.
Ono atimbye ebiyitirirwa ku makubo gonna agatuuka e Kololo awali olukungaana lwa pulezidenti Museveni okumulaga n'okumwaniriza mu mukwano.

Ebiyitirirwa ebizimbiddwa Majembere
Yeebazizza banna Kampala olw'omukwano gwebalaze Jjajja mwami naabasaba nga 15 January babukeeze nkokola okugenda awalonderwa bayiire omwagala w'abangi Yoweri Kaguta Museveni obululu n'abali ku kaadi ya NRM bonna, bawangulire waggulu mu kulonda kuno mu Kampala ne Uganda yonna.
Abasabye okukuuma emirembe, nga buli amala okulonda adda awakaawe ebiddirira abirindirire ku TV oba leediyo ye.
Naalabula abeetegese okukola effujjo nti kajja kubajjutuka, kubanga bbo tebaagala kutataaganya ddembe pulezidenti Museveni lyeyaleetera bannayuganda.