Amawulire

Abazigu ab'emmundu basse omukuumi w'obwannannyini ne bakuulita n'obukadde bwa ssente!

Bibadde mu Central zzooni e Kiwaatule mu munisipaali y’e Nakawa mu Kampala, ekibinja ky'ababbi ab'emmundu nga batambulira ku pikipiki bbiri, bwe balumbye Kyolina Kyekikweyimirira Company akawungeezi ne banyaga ssente.

Abazigu ab'emmundu basse omukuumi w'obwannannyini ne bakuulita n'obukadde bwa ssente!
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

ABAZIGU ab'emmundu bakubye omukuumi amasasi agamusse, ne bakuuliita n'obukadde bw'ensimbi 28.

Bibadde mu Central zzooni e Kiwaatule mu munisipaali y’e Nakawa mu Kampala, ekibinja ky'ababbi ab'emmundu nga batambulira ku pikipiki bbiri, bwe balumbye Kyolina Kyekikweyimirira Company akawungeezi ne banyaga ssente.

Kigambibwa nti basoose kukuba mukuumi w'ekitongole kya Tactical Security Company Asuman Ddamba 35, amasasi agamusse nti oluvannyuma ne bayingira munda, ne bakanda ababaddemu ssente, okukkakkana nga batutte obukadde 28.

Kitegeezeddwa nti badduse nga boolekera Kiwaatule Naalya era abatuuze ne bagezaako okubakubira enduulu n'okwagala okubalondoola, kyokka ne bakuba amasasi mu bbanga ne beeyongerayo.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala, Luke Owoyesigyire, agambye nti bagezaako okwetegereza entambi za kkamera, ng'okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Kitalo!
Ssente
Nakawa
Kiwaatule
Munisipaali
Asuman Ddamba 35