Amawulire

Aba Lions Club bennyamidde olw'abantu abalagajjalira  endwadde

Abantu abasoba mu 300 beeyiye ku kasaawe k’omu Naguru 11 mu olusiisira lw’ebyobulamu.    

Abantu nga bakeberebwa endwadde ez'enjawulo
By: Ritah Mukasa, Journalist @New Vision

Abantu abasoba mu 300 beeyiye ku kasaawe k’omu Naguru 11 mu olusiisira lw’ebyobulamu.

Luno lwategekeddwa Lions club of Kampala East nga bali wamu ne Lions club international mwebaakeberedde abakadde ekirwadde kya Sukaali, Puleesa ssaako n'akawuka akaleeta mukenenya.

Obwedda abasawo basooka kubabuulira engeri y’okwewala n’okujjanjaba endwadde ya sukaali oluvannyuma ne bababudaabuda n’okubaggyako omusaayi.

Olusiisiira lw 'ebyobulamu luno lwabaddewo ku lwomukaaga era ng'abantu abaasangiddwa  mu mbeera embi baasindikiddwa mu ddwaliro lya China Naguru hospital okufuna obujjanjabi.

Abantu abaze okufuna obujjanjabi

Abantu abaze okufuna obujjanjabi

Hilda Mugenyi, omumyuka wa pulezidenti wa Lions Club of Kampala East yagambye nti ekibiina kino kyesigama ku mpagi okuli okulwanyisa enjala n’okumanyisa abantu ku bulwadde bwa kkansa mu baana ne ssukaali nga bayita mu pulogulaamu ya Lions community diabetes management initiative.

Okusalawo okugenda e Naguru yagambye nti baakizudde ng’abatuuze baayo bangi baalwala ssukaali naye nga tebamanyi ate abalala bamanyi kyokka tebasobola kwetuusaako bujjanjabi.

Ronald Kakuba, omuwandiisi yayongeddeko nti era bateeka nnyo essira ku kukuuma obutonde bw’ensi n’okuyamba abantu okulaba.

Yayongeddeko nti baasuubidde abantu 150 kyokka ne baasusse mu 300 nga ng’abasinga obulwadde bavubuka okwawukanako ne bwe gwali edda ng’abakadde be basinga okulwala sukaali.

Nusula Mbabazi kkansala w’abakyala era minista w’ensonga z’ekikula ky’abantu mu divizoni y’e Nakawa yagambye nti Naguru 11 erimu zzooni 33 naye 25 ku za ghetto era abatuuze bamufunampola. Bangi balwala ne bafiira mu mayumba nga tebasobola kwetuusaako bujjanjabi.

Yeebazizza aba Lions club era n’abasaba okubatwalira ensiisira endala.

Lion’s Club International kyekimu ku bibiina by’obwannakyewa ebisinga obunene mu nsi yonna nga kyatandikibwawo mu 1917. Mu Uganda kirina bammemba abasukka mu 2,000

Tags: