Uganda yaakutandika okukola eddagala eriwonya kkansa ne nnalubiri ku bbeeyi ensaamusaamu .
Akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga za pulezidenti kakyalidde ekkolero ly'eddagala erya lino okulaba enzirukanya y'emirimu.
Bano bakulembeddwa omubaka wa kanyum mu Kuumi Simon Peter Opolot era baasoose kulambula kkolero ne balaba ebyuma ebiri mu kkolero, abakozi abalirimu ,ebifo awakolerwa n'okutereka eddagala n'ebirala bingi .
Oluvannyuma lw'okulambula , akakiiko katudde ne ddayirekita w'ekkolero lino Dr. Mathias Magoola okubaako bye bawayaamu era balaze obumativu ne basiima engeri ekkolero gye litambuzaamu emirimu omuli okuwa bannansi emirimu ng’abakozi bonna be balabyeyo bannansi ate nga bavubuka .
Dr. Magoola yeebaziza pulezidenti Museveni olw’okuwa ssaayansi enkizo mu ggwanga nga kino kikoze kinene nnyo okutuusa ekkolero lino ku ddaala kwe liri .
Yagambye nti abantu bangi tebamanyi nti waliyo eddagala erijjanjaba kkansa oba nnalubiri wadde era bwe banaalikola lyakutundibwa ku bbeeyi layisi okusinga ku bbeeyi etundibwa ku katale k’ensi yonna .