Poliisi esiimye kkooti mu gwa Naggirinya
Oct 25, 2023
POLIISI esiimye kkooti okusingisa emisango ababadde bavunaanibwa okutta Maria Naggirinya ne Ronald Kitayimbwa n’okubawa ebibonerezo ebikakali n’egamba nti bunobuwanguzi bwa maanyi obwatuukiddwaako.

NewVision Reporter
@NewVision
POLIISI esiimye kkooti okusingisa emisango ababadde bavunaanibwa okutta Maria Naggirinya ne Ronald Kitayimbwa n’okubawa ebibonerezo ebikakali n’egamba nti buno
buwanguzi bwa maanyi obwatuukiddwaako.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga yagambye nti poliisi yakola kya maanyi mu kukung’aanya obujulizi n’okukwata abeenyigira mu ttemu lino era nga kkooti kwe yasinzidde okubasingisa omusango guno.
Yagambye nti poliisi yakola nnyo mu kunoonya abatemu ekyavaako okukwata Copoliyamu Kasolo, Hassan Kisekka, Nasif Kalyango, Shafi k Mpanga ne Isaac Ssenabulya nga kino yakituukako ng’ekwataganye n’ebitongole ebirala okuli Flying Squad, Crime Intelligence, CMI, ISO, SFC, abaserikale abakkakkanya obujagalalo
wamu n’okweyambisa kkamera eziri ku nguudo n’abantu baabulijjo.
No Comment