Libadde ssanyu jereere mu disitulikiti y’e Mayuge nga basiibula Inebantu wa Busoga mu butongole okuva mu maka ga bazadde be e Mayuge.
Inebantu Jovia Mutesi asiibuddwa wakati mu mizira, amazina, embuutu, saako okutendereza Katonda ku mukolo ogubadde ku kyalo St. Mulumba mu Mayuge town kanso mu disitulikiti y'e Mayuge.

Dada Wa Busoga Stanly Bayole Ne Mama Wa Inhe Bantu
Bino we bijjjidde nga wabula ennaku mbale okutuuka ku lunaku mulindwa Inhebantu lw'agenda okugattibwa mu bufumbo obutukuvu ne Kyabazinga wa Busoga, Wilberforce Gabula Kadhumbula Nadyope IV nga 18 November.
Omukolo guno gwetabiddwaako abeebitibwa bangi mu ggwanga okuli omumyuka wa Katikkiro owookusatu, Hajat Rukia Isanga Nakadama, minisita omubeezi owa ICT; Joyce Nabbosa Ssebuggwawo, amyuka mufuti wa Uganda Sheikh Ali Waiswa kwossa n'abakulembeza b'eby'ennono mu Busoga.
Omukolo gutandise n'okusaba okukulembeddwaamu Ssaabadinkoni w'e Kyando Rev. Charles Irongo.