Kemigisha alaze engeri gy'afunye mu kirooto kye eky'okulunda enkoko

OKUFUNA mu bulunzi bw’enkoko olina okuba n’okwagala okw’enjawulo n’obumalirivu kuba bingi by’oyitamu okutuuka ku buwanguzi.

Kemigisa (bwafaanana ku kkono) n’omu ku bakozi be nga balonda amagi. Ku k kono, Auleria Kemigisa ng’akebera enywanto z’enkoko
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OKUFUNA mu bulunzi bw’enkoko olina okuba n’okwagala okw’enjawulo n’obumalirivu kuba bingi by’oyitamu okutuuka ku buwanguzi.
Auleria Kemigisa,30, nnannyini Grun Farm International kw’alundira enkoko ku kyalo Buso-Namulonge mu disitulikiti y’e Wakiso agamba nti, okufuna akakoko ak’olunaku olumu okalunde okutuuka ku myezi ena enkoko etandike okubiika okwate ku ssente oteekwa kuba mugumiikiriza nga ne ky’okola okyagala.
“Okwagala kwe nnina mu kulunda si kwa kufuna ssente kyokka wabula n’okusikiriza abalala naddala abavubuka nabo okubuyingira kuba bulimu ssente. Bangi be mbwagazisizza era ne mbatendeka nga kati baafuna bizinensi,” bw’agamba.
Kemigisa omu ku balunzi abaavuganya mu mpaka z’Omulimi Asinga omwaka guno ezitegekebwa Vision Group etwala ne  nga zissibwamu ssente ekitebe kya Budaaki mu Uganda, bbanka ya dfcu, kkampuni y’ennyonyi era KLM Royal Dutch Airlines ne Koudijs BV.
Kemigisa alunda enkoko z’amagi 4,000 mu keegi, alina ekyuma ekikuba emmere ate kalimbwe n’amukozesa okukola omukka gwa Biogas gw’akozesa okufumba awaka.
OKUTANDIKA GRUN FARM
Kemigisa agamba nti, okulunda kyali kirooto kyabwe ne bba Aggrey Asiimwe era mu 2020 baatandika ffaamu eno nga bali ne mukwano gwabwe Jovan Ninzeyimana era bagiddukanya nga bizinensi ya ffamire.
“Ffe okulunda si bizinensi ya kukolamu ssente kyokka wabula engeri y’okutambuza obulamu ekyetaagisa obuyiiya n’okuwa obudde,” bw’agamba.
Olw’okuba baali baagala okuyingira obulunzi nga bizinensi, baatandika okukyalira abalunzi n’okwetaba mu misomo gye baafuna okumanya ku bintu eby’enjawulo okutuuka okusalawo okulunda enkoko.
“Oluvannyuma lw’okukyalira abalunzi ab’enjawulo, twatandika okulunda enkoko ez’amagi nga twatandika n’enkoko 1000 mu 2020 kuba twalina ssente z’okutandika ntono ate twaterekanga,” bw’agamba.
Okuva wano, baatandika okugenda nga bagaziwa nga mu kiseera kino balina enkoko ezibiika 3,109 nga ziri mu bukulu bwa mirundi ebiri n’ento ez’omwezi ogumu 1,121.
“Olw’okuba eno bizinensi yaffe, tugiwa obudde n’okugirowooleza. Noolwekyo, tetukomye ku kwongera ku muwendo gwa nkoko naye twongedde ne ku tekinologiya nga kati tulundira mu keegi eziyamba okukuuma obuyonjo, okwewala okubbibwa kuba kikwanguyiza okubala enkoko zo, okukekkereza emmere ate nokwanguya emirimu,” bw’agamba.
BBULUUDA
Kemigisa agamba nti, ekiyumba kye baatandikiramu okulunda enkoko kati kye bakozesa nga bbuluuda. Annyonnyola nti, wadde enkoko zaabwe bazirundira mu keegi, basooka kuzikuliza mu bbuluuda okumala
beeyongera okunoonyereza okuyita ku yintaneeti n’okukyalira abalunzi abalala ne bakizuula nti, okulundira mu keegi nkola esinga okuyamba omulunzi w’enkoko okufuna mu bizinensi eno.
“Zikendeeza okusaasaana kw’obulwadde kuba enkoko zibeera wayonjo, obutabbibwa kuba buli keegi ebeera n’omuwendo ogussibwamu ng’oyanguyirwa okulaba eggyiddwawo ate n’okulaba etabiika kuba amagi geekuhhaanya mu muteeko okusinziira ku buli keegi,” bw’agamba.
Annyonnyola nti, baatandika mpola naye leero ekiyumba ekimu kyajjula nga kisobola okutwala enkoko 3000.
EMISOMO GIBAYAMBYE KINENE
Kemigisa agamba nti, mu misomo n’okulambula ffaamu baakizuula nti, emmere etwala ettundutundu lya bitundu nga 70 ku 100 ku nsaasaanya ya ffaamu ekitegeeza nti, omulunzi anaafuna mu nkoko, kimwetaagisa okukwataganya omutindo n’ebbeeyi y’emmere gy’oliisa enkoko zo okusobola okubiika obulungi.
emyezi esatu ne balyoka bazissa mu keegi nga zinaatera okutandika okubiika.
“Olw’okuba bbuluuda tukozesa y’emu nga buli luvannyuma lwa myezi tuleeta obukoko, tutandika okugiteekateeka nga tebunnajja. Wano ekisenge tukyoza wansi n’ebisenge n’oluvannyuma ne tukifuuyira n’eddagala eritta obuwuka ng’ebula nga wiiki nnamba okutuusa obukoko,” bw’agamba.
Ng’ebula ennaku bbiri, bano batandika okubugumya ekisenge kino nga kino kiyamba okukakasa nti, ebbugumu erikirimu lyenkana wonna okutangira obukoko okwekomeka awamu ekibuleetera okuziyira ne bufa.
Olw’okuba obukoko buno bubeera buto, obeera olina okubuwa ebbugumu ng’okozesa ensuwa omussibwa amanda kw’ossa ettundubaali eritangira empewo esusse naddala mu budde bw’ekiro n’enkuba ng’etonnya.
OKULUNDIRA MU KEEGI
Bano oluvannyuma lw’okutandika okulunda“Okwekakasa omutindo n’okubeera n’emmere emala ekiseera kyonna, twasalawo okuzimba ekyuma ekikuba kasooli kye tukozesa okukuba obuwunga bwe tulya ku ffaamu ate ne kasooli w’obuweke (Broken) gwe tukozesa okutabula emmere y’enkoko zaffe,” bw’agamba.
Bagula kasooli gwe bakuba olwo ne batabula n’ekirungo kya Koudijs/Kafi ika okufuna emmere y’omutindo ng’enkoko zaabwe zibiika okutuuka ku bitundu 95 ku 100 olunaku.
AMAZZI
Kemigisa annyonnyola nti, ekitundu kyabwe kyonna kirina ekizibu ky’amazzi kuba wadde amazzi g’emidumu gaatuuka, ebiseera ebisinga tegabeerako. Baasalawo okukuηηaanya amazzi agava ku biyumba byonna ebiri ku ffaamu mu ttanka nga gano
okusinga gakozesebwa bakozi n’okwoza ekifo.
“Ag’okuwa enkoko, tulina omusajja w’ekimotoka ky’amazzi agatuleetera ng’ekimotoka
tukigula 170,000/-. Ffaamu eriko ttanka ezisoba mu ttaano omussibwa amazzi ng’ezimu ze zaayungibwa ku ttanka egabira ebiyumba amazzi okuyita mu payipu ng’ekimotoka kimu tukikozesa mu nnaku ttaano,” bw’agamba.
AMAGI N’AKATALE
Kemigisa agamba nti, mu kiseera kino enkoko ze zimuwa ttule 95 mu lunaku ng’okutwaliza awamu tule agitunda 10,000/-. Akatale k’amagi ge agamba
nti, okutandikira ku kitundu w’abeera nga waliwo abasiika capati abagamugulako olwo
n’agattako amasomero ne supamaketi.
“Nnina amasomero ge ngabira amagi kyokka agamu nagasalako mu kiseera kya ssennyiga omukambwe kuba nakendeeza obungi bw’enkoko olw’embeera eyaliwo naye twogerezeganya era we nziriramu okuweza obungi obunsobozesa bonna okubawa ηηenda kuddamu nabo okubawa,” bw’agamba.
EBYOKWERINDA
Ffaamu eri munda mu kikomera ekizimbe okuli ne ggeeti nga mwe musangibwa n’amaka gaabwe kuba basulira ddala wano. “Kino kiyamba okukuuma ffaamu yaffe okuva eri ababbi, ebisolo n’ebinyonyi ebitaayaaya.
Mu ngeri y’emu, enkoko zeetaaga okwegenderezaennyo okuzitangira obulwadde
obw’enjawulo, noolwekyo abagenyi abatali bakozi tebakkirizibwa kuyingira ate
n’abatono abakkiriziddwa kw’ossa abakozi basooka kulinnya mu ddagala okutta obuwuka,” bw’agamba.
Ayongerako nti, baategeezebwa nti, mu mawanga agaakula, abagenyi okuyingira ffaamu y’enkoko basooka kunaaba ne baweebwa n’engoye za ffaamu, nabo kino kye baluubirira
okutuukako.
FFAMIRE
Wadde nga bba Aggrey Asiimwe alina omulimu gwa ofi isi gw’akola, kitundu ku
nzirukanya ya ffaamu ng’agamba nti, okusinga ali mu bya ssente naddala okunoonya
ez’okwongeramu okulaba nga ffaamu ezimbibwa.
Kemigisa agamba nti, wadde omwana waabwe akyali muto, naye akola naye mu kulonda amagi nga kino akikola okumusikiriza n’okumusigamu omutima gw’okulunda nga bizinensi nga ne bw’alibeera asomye n’afuuka omukugu mu kintu ekirala kyonna, asoboka okulowooza ku kulunda nga bizinensi endala esobola okumuyingiriza ssente.
ABAKOZI
Ku ffaamu eno kuliko abakozi bataano abakola mu kiyumba ky’enkoko ate ne mu kyuma ekikuba emmere.
Agamba nti, bano abasaasaanyizaako akakadde kamu n’emitwalo abiri  omwezi kw’abagattira okubaliisa, okubasuza n’okubajjanjabisa nga  baawandiisibwa ku ddwaaliro lya Namulonge Medical Center.
Wabula bwe wabeerawo emirimu emingi ng’okukyusa enkoko okuzissa mu butimba, okuyoola kalimbwe n’ebirala, bafunayo abakozi abalala ne bawera nga kkumi nga
bano basasulwa lunaku lwe bakoze 10,000/-.
“Olw’okuba guno gwe mulimu gwange gwe nkola buli lunaku, nange nneesasula okufuna ssente z’enkozesa ku byetaago byange ng’omuntu,” bw’agamba.
OKUKUUMA EBITABO
Agamba nti, okukuuma ebitabo kikulu mu bizinensi yonna naddala obulunzi kuba kikuyamba okulondoola by’okola kw’osinziira okukola okusalawo ku nsonga ezitali zimu. “Wano tulina ebiwandiiko by’emmere gye tuliisizza enkoko buli lunaku okumanya bw’ekoze n’enkyukakyuka ezirina okukolebwa,
eddagala, embiika n’ebbeeyi y’amagi olwo ne tulondoola ennyingiza ya ffaamu,” bw’agamba.

KALIMBWE BAMUKOLAMU GGAASI
Kalimbwe kimu ku bisoomooza abalunzi b’enkoko naddala abalundira mu bibuga ate nga bakozesa enkola ya keegi. Okusobola okukwataganya obulungi kalimbwe ono, Kemigisa amukolamu omukka ogufumba nga wano ayambibwa okukekkereza ku
ssente z’asaasaanya mu kufumba awaka ate n’okubugumya obukoko.
Mu ngeri y’emu, alina ekyuma ekikaza kalimbwe olwo ne bamuguza abalimi ng’ebigimusa nga buli nsawo bagitunda waati wa 9,500/- ne 10,000/-.
OKUGASA EKITUNDU Kemigisha agamba nti, kizibuokukolera mu kitundu ng’abatuuze tebakumanyi. Wano yakwatagana n’abatuuze era be bakola ku ffaamu ye okutandikira ku muliraanwa.Agamba nti, bakkiriza abantu okujja ku ffaamu okuyiga okuli n’abayizi abaliko bye basoma nga gye buvuddeko baabadde n’omuyizi wa Makerere yunivasite akola ddiguli mu ssomo lya Agribusiness, gwe baali naye nga bamuyigiriza.
“Buli mwaka tutegeka ekikopo ky’omupiira gw’ebigere nga kya ttiimu z’ekitundu era omuwanguzi aweebwa ekikopo n’akakadde ka ssente ate owookubiri n’aweebwa kimeeme w’embuzi,” bw’agamba

OKUSOOMOOZEBWA

Kamugisa agamba nti, okusoomoozebwa okusinga mu kulunda enkoko ebeera
mmere kuba singa ebula oba n’egwa omutindo, kitegeeza enkoko zigenda kusala buli kimu okutandikira mu nkula okutuuka ku magi ge zibiika.
“Olw’okuba emmere y’etwala ekitundu ekisinga obunene ekya ssente omulunzi z’asaasaanya ku ffaamu, enkyukakyuka yonna eggya mu bbeeyi y’emmere etabula ekibalo kyonna kuba emirundi mingi ogenda obaze kirala okugenda okutuuka ku katale ng’eriyo bbeeyi ndala,” bw’agamba.  Okusoomoozebwa okulala kwe balina kwa mazzi engeri ekitundu kyabwe gye kitalina mazzi ga kitongole geesigika bulungi nga balina okugula ekimotoka. Kino kyongeza ensaasaanya ya ffaamu n’okussaawo embeera y’okusattira bwe gaggwaawo ekitegeeza nti, enkoko ziba tezigenda kubiika bulungi

ENTEEKATEEKA Z’OMU MAASO

Kemigisa agamba nti, ekirooto kye kwe kulaba ffaamu eno ng’efuuse ey’amaanyi ng’eyingidde ne mu kulunda enkoko z’ennyama kw’ossa okuzisala n’okuzisiba obulungi, okuyigiriza abalunzi abalala ennunda y’omulembe.
“Tulina enteekateeka eyingira mu kufumba emigaati ne kkeeki ebikozesa amagi kw’ossa okugaziya okulunda embizzi ku ttaka eddala lye tulina mu Luweero.