POLIISI y’e Kabalagala ekutte abantu 12 olw’okwenyigira mu mivuyo gy’ebyokulonda mu banaakwatira NRM bendera mu kuvuganya kwa bonna ku bifo byóbwakkansala ku magombolola.
Ono Naye Nyabadde Ataataaganya Ebyokulonda Ku Luwum!
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala némirira, Luke Owoyesigyire yagambye nti emivuyo mu kulonda gyolekedde mu bitundu okuli Kansanga, Namuwongo ne Kibuli nga e Kansanga ne Namuwongo waliwo ebibinja by’abavubuka ebyabadde bigezaako okugootaanya okulonda wabula abaserikale ne bakwatako 10 ne batwalibwa ku poliisi e Kabalagala abalala ne badduka.
Yagambye nti ku Villa Park ekiri mu Kibuli abaabadde bakuliddemu okulondesa , Sharon Sabiti ne Abdul Nankunda baakwatiddwa olw’okugezaako okukuutiza ebyavudde mu kulonda ne baggulwako omusango oguli ku ffayiro nnamba SD 73/16/08/2025.
Abaserikale Nga Baliko Byebbagamba Abaabadde Bagenze Okulonda Mu Kamyufu Ka Nrm Ku Utc Village
Mu Kampala wakati, mu muluka gwa Nakivubo IV poliisi yayiye abaserikale baayo ne balondoola awaabadde okulonda okutangira abakozi b’efujjo era abamu ne bakwatibwa.
Ku Luwum Street, aduumira poliisi ya CPS, SP Tukundane yalagidde bonna abaabadde bazze okulonda basooke babakebere oba amannya gagwe gali mu Ligesita (soma register) n’alabula bonna abataliimu nga basimbye layini nti baakukwatibwa era abamu baakwatiddwa ne batwalibwa.