Hadijah Namyalo alabudde abakulira okulonda kwa NRM mu Kampala
AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo alabudde abakulira okulondesa kwa NRM mu Kampala okwewala okugulirirwa abesimbyewo ne batuuka okulangirira abanafu abatawangudde ekigenda okuwa aba NUP omukisa okuddamu okutuwangula mu Kampala
Namyalo ng'akuba amasimu ag'okumukumu
By Joseph Mutebi
Journalists @New Vision
AKULIRA offiisi ya ssentebe wa NRM mu ggwanga Hajjat Hadijah Namyalo alabudde abakulira okulondesa kwa NRM mu Kampala okwewala okugulirirwa abesimbyewo ne batuuka okulangirira abanafu abatawangudde ekigenda okuwa aba NUP omukisa okuddamu okutuwangula mu Kampala
Akavuvungano akabadde mu kulonda
Namyalo nga yakulira okulondoola akamyufu ka NRM mu Kampala ne Wakiso yabyogedde alambula ebitundu omwalondeddwa mu Kampala ekyenjawulo okwabadde Lubiri Ss aba Lubaga we balondedde Sharon Babirye n'awangula 31 ate Josephine Nanteza nafuna 26 Kyokka Nanteza agamba nti bakyusizaamu obululu bwe ne Babuwa Babirye
Namyalo nga bamunnyonnyola
Gloria Chebet yawangudde Kampala Central bakyala Kampala Central 75, Yawangudde Christine Ninsiima eyaduuse ku layini nga bakyabala.