Basabye Katikkiro ku bukadde ze babanja Gavumenti

ABEEGASSI mu kibiina kya Kyegonza Coffee Farmers Cooperative basabye Katikkiro Charles Peter Mayiga abatuusizze eddoboozi lyabwe mu gavumenti ebasasule obukadde 56 ze babanja oluvannyuma lw’okugiguza endokwa z’emmwanyi 3,850 kati emyaka ena egiyise.

Katikkiro ng’abuuza ku Bp. Micheal Lubowa owa Central Buganda e Kanoni- Gomba.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

ABEEGASSI mu kibiina kya Kyegonza Coffee Farmers Cooperative basabye Katikkiro Charles Peter Mayiga abatuusizze eddoboozi lyabwe mu gavumenti ebasasule obukadde 56 ze babanja oluvannyuma lw’okugiguza endokwa z’emmwanyi 3,850 kati emyaka ena egiyise.
Hamis Buyungo Ssonko ye yatuusizza okusaba kwabwe kuno n’agamba nti endokwa baaziguza ekitongole kya Uganda Coffee Development Authority nti ekyasinga okubamalamu amaanyi, ky’ekitongole kino okuggyibwawo omwaka oguwedde nga tebannasasula.
Bino baabimutegezezza bwe yabadde abakyalidde ku kyalo Nakijju mu ggombolola y’e Kyegonza mu ssaza ly’e Gomba ku Lwokubiri ku bugenyi bwe yabaddeko okulambula abalimi mu nteekateeka y’Emmwanyi Terimba.
Mayiga yeebeebazizza olw’okutegera obukulu bw’obwegassi n’abasaba okubutambuza mu ngeri y’obwerufu.
Yalambudde abalimi ku kyalo Kasiba mu ggombolola y’e Kyegonza nga yasembedde Kanoni.