KKOOTI ewozesa emisango gy’abalyake n’abali b’enguzi e Wandegeya eyise eyali akulira yunivasite ya Makerere Business School (MUBS), Polof. Wasswa Balunywa ku misango gy’okukozesa obubi ofiisi.
Mu ngeri y’emu eriko abakozi ba Gavumenti 12 be yavunaanye n’ebasindika ku limanda e Luzira ku misango gy’obulyake n’okukozesa obubi ofiisi ne bafiiriza gavumenti ssente eziri eyo mu buwumbi.
Abaavunaaniddwa kuliko; abakozi ku kisaawe ky’ennyonyi, abakozi mu ddwaaliro lye Ntebe, abakozi mu kitongole kya Poliisi e Naggulu n’abakozi ku yunivasite ya MUBS.
Baasimbiddwa mu maaso g’abalamuzi ab’enjawulo okwabadde ey’omulamuzi Racheal Nakyazze, Christopher Opit, Esther Asiimwe ne Paul Mujuni ne baggulwako emisango egy’enjawulo.
Emisango Balunywa agiriko ne Jacquline Namaganda era ono yasimbiddwa mu maaso g’omulamuzi, Nakyazze n’asindikibwa ku limanda ku musango gw’okulagajjalira obuvunaanyizibwa n’akkiriza okuyingiza abakozi abatalina bisaanyizo okuli; James Arike, Nathan Nuwagira ne Nimrod Kakayi.
Abalala abaavunaaniddwa kuliko; Jennifer Etiti Okaka akulira abakozi mu kitongole ky’ennyonyi ekya Civil Aviation Authority , Augustine Byamukama, Alitusubira Rachel, Ngabirano Joseph nga bano bakozi ku MUBS nga bano beebulankanya ku mirimu ne basasulwa ssente nga tebakola. Abakozi abalala okuli; Dora Alyatuha, Oyiti Francis, Nalweyiso Waliya, Kikulwe Paul, Polof. Balunywa, Grace Kibanda, Katumba Lawrence ne Oyite Francis kkooti yabalagidde beeyanjule.
AKKIRIZZA OMUSANGO
Eyali omuserikale wa poliisi n’awummula akkirizza omusango gw’okufiiriza gavumenti ssente ezisoba mu bukadde 20 ze yafunanga ng’omusaala kyokka nga takola.
Francis Oyet 44, omutuuze w’e Kyebando Nansana e Wakiso yakkiriza omusango guno mu maaso g’omulamuzi Esther Asiimwe.
Omusango guno Oyet aguliko n’eyali mukama we Dorah Aryatuha.
KAMISONA WA POLIISI AVUNAANIDDWA
Kamisona wa poliisi avunaanyizibwa ku bakozi mu kitongole kya Poliisi, Eldad Mugume naye yagguddwaako emisango 6 egyokukozesa obubi ofiisi, wabula yagyegaanye