Amawulire

Mpuuga ayambalidde sipiika Among olw'okubatiisatiisa okubagoba mu Palamenti

AKULIRA  oludda oluwabula gavumenti mu parliament Mathias Mpuuga atabukidde sipiika wa Parliament n'amugamba akomye okubatiisatiisa nga bwagenda okubagoba mu palamenti singa bagenda mu maaso n'okuzira entuula.

Mathias Npuuga ng'ayogerera mu lukung'aana lw'abannamawulire
By: Edith Namayanja, Journalists @New Vision

AKULIRA  oludda oluwabula gavumenti mu parliament Mathias Mpuuga atabukidde sipiika wa Parliament n'amugamba akomye okubatiisatiisa nga bwagenda okubagoba mu palamenti singa bagenda mu maaso n'okuzira entuula.

Olunnaku lw’eggulo Sipiika wa palamenti Anita Among bweyabadde aggulawo olutuula lwa palamenti yategeezezza nti abali ku ludda oluvanyuma gavumenti kati bawezezza ennaku 3 nga tebabeera mu palamenti era Singa ziwera entuula 15 ez'omudiringanwa wakubafuumula mu palamenti nga amateeka bwegalagira.

Wabula Mpuuga asinzidde mu lukung'aana lwa bannamawulire ku palamenti  n'agamba  Anita amaanyi gabataddeko mu kubatiisatiisa gegamu galina okussa ne ku ba minisita abatatuula mu palamenti okuli Rebecca Kadaga, Kahinda Otafiire, Jim Muhwezi, Minsa Kabanda, Milly Babalanda, Kasule Lumumba n’abalala .

Ababaka ba Palamenti nga bali mukusaala

Ababaka ba Palamenti nga bali mukusaala

Mpuuga agambye sibetegefu kudda mu palamenti okutuusa nga gavumenti evuddeyo ne nnyonyola abantu abawera 18 abaawambibwa ebitongole byebyokwerinda.

Mpuuga era agambye nti gavumenti bagiwade okutuuka wiiki ejja okubaako kyebannyonyola olw’e Bwekigaana bajja kulangirira ekiddako.

Mungeri yeemu agambye bagende kussa okusabira abantu baabwe nga batandise n'olwaleero ku palamenti mu Juma era nga enkya baakusabira mu kanisa z’abadeventi ate ku Sunday bakubeera n’ okusaba mu klezia n’amakanisa.