Kkooti yaakusalawo mu guvunaanibwa omugagga Nabukeera

Abasuubuzi beeyiye ku kkooti ya Buganda Road okuwulira ensala y'omulamuzi ku musango oguvunaanibwa omugagga w'omu Kampala Christine Nabukeera ne Vincent Mawanda egyamuwaabirwa eyali omupangisa we ku kizimbe kya Nana Centre.

Nabukeera ne Mawanda mu kaguli.jpg
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision
#Kkooti #yaakusalawo #omugagga #Nabukeera

Bya Paul Galiwango 

Abasuubuzi beeyiye ku kkooti ya Buganda Road okuwulira ensala y'omulamuzi ku musango oguvunaanibwa omugagga w'omu Kampala Christine Nabukeera ne Vincent Mawanda egyamuwaabirwa eyali omupangisa we ku kizimbe kya Nana Centre.

Kabanda Asooka Ku Kkono N'abasuubuzi

Kabanda Asooka Ku Kkono N'abasuubuzi

John Kabanda ye yawawaabira Nabukeera ne Mawanda ng' abavunaana emisango ebiri okuli okumenya edduuka lye D24 eryali lisangibwa ku kizimbe kya Nana Centre  ne babbamu ekkutiya z'engatto 43 ensimbi obukadde 175 enkalu ne ddoola 125,000.

Olwaleero kkooti lw'esalawo oba nga Nabukeera ne Mawanda balina emisango gy'okwewozaako oba beejjerezebwa ensala etunuuliddwa ennyo.