OMWANA w'ekisulo ow'ekibiina ekyokusatu, ali mu kusattiza bazadde be n'abasomesa bw'abuzeewo mu ngeri etategeerekeka okuva ku ssomero nga kati kumpi wiiki nnamba.
Omwana Ono Bonita Katushabe 9 ng'asomera mu ssomero lya Great Kings and Queens P/S e Ndejje Zanta mu munisipaali ya Ssabagabo Makindye e Wakiso, ye yabuze okuva ku ssomero eryo mu ngeri etannategeerekeka.
Kigambibwa nti omwana yabuzeewo ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, oluvannyuma lwa meeturooni okumunenyaako ng'alina omusango gwe yabadde akoze nti n'abula.
Akulira essomero lino Meddie Bugembe, agambye nti banoonyeza ku poliisi eziwerako ne mu bitundu eby'enjawulo, naye nga buteerere, kwe kusaba abeera amulabyeko wakiri okutemya ku poliisi.
Nnyina w'omwana Gladys Nyamaizi , agambye nti, omwana we mukakkamu nti naye y'ewunya engeri gye yabuzeemu.
Omwogezi wa poliisi mu Kampala Patrick Onyango, agambye nti bakyanoonyereza ku nsonga eno, era naye n'asaba amulina , okutegeeza poliisi.