Bya Hannington Nkalubo ne Harriet Nakalema
OMUSUUBUZI John Kabanda attunka n'omugagga Christine Nabukeera mu musango gw'edduuka, avudde mu kkooti ng'awaga.
Omusango bagwongeddeyo nga omujulizi oludda lwa Nabu-keera gwe lwagala talabise.
Kino kiwadde Kabanda amaanyi nti ate omujulizi gwe beesibyeko abawe obujulizi, Joseph Mbalire muganda we era ye alaba kimwongera maanyi kubanga ate yawa dda obujulizi.
Kyokka looya wa Nabukeera ayitibwa Dusmus Kabega yasaba omulamuzi Namboozo amuk-kirize addemu akunye omujulizi ono. Mbalire eggulo yabadde wa kukunyizibwa okukakasa nti ddala yalaba nga batwala em-maali okuva mu dduuka.
Oludda lwa Kabanda lwaka-lambidde nti Mbalire yawa dda obujulizi, tasaana kuddamu kuwa bulala. Wabula oludda lwa Nabukeera nalwo lukalambidde nti bateekwa okuddamu okumu-kunya era omulamuzi Namboozo kino asazeewo nti nakyo agenda kusooka akiweeko okusalawo oba oludda lwa Nabukeera lud-damu okumukunya oba tebad-damu kumukunya.
Eggulo enjuyi zonna zaabadde mu kkooti era Kabanda yabadde awerekeddwa ekibinja ky'abasuubuzi.