Abantu bajjumbidde okujjuza akakonge ka Bukedde
Nov 29, 2023
EBBUGUMU lya kakonge ka gabula Ssekukulu lyeyongedde abakozi ne ba kasitooma ba Kyelima General Hardware bwebajjumbidde okujjuza akakonge kano mu lupapula lwa Bukedde agabagulidwa manager wa kampani eno nabo basobole okwewangulira kubya ssava.

NewVision Reporter
@NewVision
EBBUGUMU lya kakonge ka gabula Ssekukulu lyeyongedde abakozi ne ba kasitooma ba Kyelima General Hardware bwebajjumbidde okujjuza akakonge kano mu lupapula lwa Bukedde agabagulidwa manager wa kampani eno nabo basobole okwewangulira kubya ssava.
Henry Ssempijja nga manager wa hardware eno yategeezezza nti basazeewo okugulira abakozi baabwe saako ne bakasitooma baabwe amawulire ga bukedde basobole okubeera bannamukisa abagenda okwewangulira kubya ssava ebigabibwa omuntu akalulu gwekabeera kakutte.
Banno baguze kopi za Bukedde 100 ne bazigabira abakozi bonna ssaako ne ba kasitooma obwedda abajja okubawagira ne bategeeza nti bakikoze okubaddiza ate nokwetaba munteekateeka za Bukedde kuba zibeera nnambulukufu nga buli kyebasuubiza bakibawa.
Omuntu okuwangula eby'essavva bya Gabula Ssekukkulu olina kugula katabo ka Bukedde buli lunaku n'osangamu akakonge n'okajjumuzaamu erinnya lyo,ekitundu gy'obeera ne number y'essimu n'okatwaala ku wofiisi za Vision Group ezikuli okumpi oba n'okawa ba agenti abatunda amawulire n'osigalira kulinda simu kukubibwa ng'olondedwa kubawanguzi.
No Comment