Obulabirizi bwa Mukono bunoonya obuwumbi 10 okuzimba lutikko empya

Nov 29, 2023

Obulabirizi bw’e Mukono butandise ku nteekateeka ey’okunoonya ensimbi ez’okuzimba lutikko.

NewVision Reporter
@NewVision

Obulabirizi bw’e Mukono butandise ku nteekateeka ey’okunoonya ensimbi ez’okuzimba lutikko.

Bw’abadde ayanja ensonga eno eri abakristaayo,omulabirizi w’obulabirizi buno Rt Rev Enos Kitto Kagodo ategeezezza ng’omulimu guno bwe gusuubirwa okuwemmenta obuwumbi obusoba mu 10 era nga buli famire ey’omukkiriza okuviira ddala ku muto paka ku mukulu, ba kusasula emitwalo ebiri ebiri.

Kagodo ategeezezza ng’ekkanisa eno bw’emaze ebbanga erisoba mu myaka 100 era ng’edaabiriziddwa emirundi mingi ate nti nfunda nnyo ng’ejjula abakkiriza ne batula ebweru era ng’ensonga eno y’emu ku zaabawaliriza okutandika omulimu guno.

 

“Ekkanisa galikwoleka gye tugenda okuzimba esuubirwa okutuza abantu 2500 era ng’evvuunike ery’okugizimba tusuubira okulitema omwaka ogujja mu mwezi ogwokubiri, tusuubira nti ekkanisa yaffe ya kuzimbibwa mu myaka ena gyokka era nga egenda kubeerako ofiisi ez’enjawulo,ekifo abaana we basabira, ne paakingi ey’omulembe.

Nsaba abakkiriza mwenna okutwala omulimu guno nga mukulu muweeyo ettofaali okuzimba ennyumba ya katonda musobole okufuna omukisa, mutwegatteko ng’obulabirizi tuzimbe ekkanisa egenda okugya mu kitiibwa kyaffe ng’obulabirizi bw’emukono.”Kagodo bw’agambye.

Maneja wa bukedde fa ma embuutikizi Herbert Yawe Kabanda omu ku bali ku lukiiko lw’abagenda okuvunaanyzibwa ku kuzimba lutikko eno  anyonyodde ku nteekateeka y’okubunya enjiri eri abakkiriza n’abalina obusobozi nga bayita ku mitimbagano n’emikutu gy’amawulire egyenjawulo era wasiddwaawo n’enkola ey’okusasulira mu bbanka ne ku masimu okwetaba mu kuzimba ekkanisa eno.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});