Makolo Kavuma yeegasse ku NUP
Nov 30, 2023
EKIBIINA KYA NUP kyaniirizza abantu 12000 okuva mu bibiina ebirala .Bano baavudde mu bibiina ebirala okuli FDC ,DP ne NRM nga bagamba nti kati balabye omusana yesaawa begatte ku kibiina kyebalaba nti kirina obusobozi obukyusa obukulembeze mumirembe

NewVision Reporter
@NewVision
EKIBIINA KYA NUP kyaniirizza abantu 12000 okuva mu bibiina ebirala .Bano baavudde mu bibiina ebirala okuli FDC ,DP ne NRM nga bagamba nti kati balabye omusana yesaawa begatte ku kibiina kyebalaba nti kirina obusobozi obukyusa obukulembeze mumirembe .
Mu bamu ku baaniriziddwa kwekuli ne Hajji. Makolo Kavuma amanyiddwa ennyo mu kukuba amasimu ku Radio ng'ateesa ku by'obufuzi .Makolo yategeezezza nti amaze ebbanga nga yelowooza ku kiki ky'azaako oluvanyuma lwa Banne mu FDC okutandika okwerumaaruma n'akizuula nti tewali kyalina kukola okujjako okwegatta ku NUP .ayongerako nti enkolagana enuungi Kyagulanyi gy'alina ne Besigye ne Lukwago nayo yamwongedde amaanyi .
Abalala abakyuse kuliko Munnamawulire Siraje Luwama n'abalala okuva e Buvanjuma ne mumambuka .Mu kwogera kwe ,Kyagulanyi yayanirizza abantu n'abeebaza okwegatta ku kibiina era n'abagumya nti bali mu kifo kituufu .Ono yalabudde n'abawagizi naddala ababeera ku mitimbagano okwewala okukozesa obubi emitimbagano nga bali mu kifaananyi kya NUP nti kubanga lwebaganda okutegeera ani owa NUP oba oyo atumiddwa okwonoona erinya ly'ekibiina
No Comment