Endagaano eyookubiri eyanise Mubajje ku Byobusiraamu
Dec 04, 2023
ENDAGAANO eyookubiri Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje, 66, kwe yatundira emmaali y’Obusiraamu nayo Bukedde agizudde!

NewVision Reporter
@NewVision
ENDAGAANO eyookubiri Mufti wa Uganda, Sheikh Shaban Ramadhan Mubajje, 66, kwe yatundira emmaali y’Obusiraamu nayo Bukedde agizudde!
Kati kkopi z’endagaano zombi Mufti Mubajje kwe yatundira ettaka ly’Obusiraamu ery’e Sembabule Bukedde azirinako kkopi nga twazizudde mu biwandiiko ebiri mu kkooti e Masaka n’e Kampala, ekitebe ky’Obusiraamu ekya Uganda Muslim Supreme Council (UMSC) gye kireppuka n’emisango egy’enjawulo omuli egyabawawaabirwa Abasiraamu olw’okutunda emmaali y’Obusiraamu n’emisango egyabawawaabirwa okutunda ettaka lye lirimu emirundi egisukka mu gumu!
Endagaano zombi Mubajje yazissaako omukono ku lunaku lumu (June 24, 2020) ng’atunda ettaka lye lirimu ( LRV 3693 Folio 12, Ranch No 31A) erisangibwa
mu disitulikiti y’e Ssembabule nga liriko obunene bwa hectare 518 (2.5 Sq miles) oba yiika 1,280!
Eby’endagaano ebbiri Mubajje ze yakola ku ttaka lye limu ku lunaku lwe lumu zibadde zikuumibwang’ekyama okutuusa omugagga Justus Kyabahwa lwe yabyasizza wiiki ewedde bwe yabadde atuukiriddwa Bukedde n’annyonnyola abasasi baffe nti ekituufu yasasula Mubajje n’aba UMSC obuwumbi 7 so si buwumbi 3 n’obukadde 500 nga y’emu ku nsonga lwaki ssente ze yasabye kkooti okumuliyira ziri obuwumbi 18 n’obukadde 909
n’emitwalo 18.
Ebyewuunyisa mu ndagaano ebbiri
lEndagaano zombi zaakolebwa ku lunaku lwe lumu olwa 24 June, 2020.
l Zombi ziraga nti Uganda Muslim Supreme Council eri ku ndagiriro P.O. Box 1146 Kampala y’etunda.
lKyokka endagaano bwe zituuka ku muguzi ne zaawukana ng’emu eraga nti Justus Kyabahwa y’agula ate endagaano eyookubiri eraga nti omuguzi ye Kayanja Arthur kyokka abaguzi bombi (Kayanja ne Kyabahwa bombi endagiriro zaabwe zifaanana ku ndagaano zombi nga bali ku P.O. Box 11442 Kampala.
·Endagaano zombi ziraga nti atunda (UMSC) ye nnannyini ttaka erisangibwa ku LRV
3693 Folio 12, Ranch No 31A mu disitulikiti y’e Ssembabule nga liriko obugazi/obunene bwa Hectares 518.
lMu ndagaano zombi ekitebe ky’Obusiraamu (UMSC) kyatunda ettaka lye Sembabule ku ssente 3,584,000,000 (Obuwumbi 3 n’obukadde 584) mu ndagaano emu ne kikkaanya ne Kyabahwa asasule ssente.
lAbaguzi bombi ssente (3,584,000,000) baalagirwa okuzisasula omulundi gumu mu Uganda shillings olwo ziteekebwe ku akawunti ya UMSC nnamba 0345064506 eri mu bbanka ya Diamond Trust Bank ku ttabi lye Old Kampala.
Endagaano zombi Mufti Mubajje yazissaako omukono gwe n’eyali Ssaabawandiisi wa UMSC, Hajji Ramathan Mugalu wamu n’eyali Ssentebe wa UMSC, Dr. Abdulkadir Balonde (kati omugenzi).
Ku ndagaano eyasooka eya Justus Kyabahwa, Munnamateeka we, Kalule Ahmad Mukasa yayiwako omukono kyokka ate ku ndagaano eyokubiri eya Kayanja Arthur kwassibwako sitampu ya kkampuni ya Bannamateeka eya Migisha Akleo Advocates
No Comment