Bya Hannington Nkalubo
ABA LC n’abatuuze mu Kisenyi batabukidde aba KCCA ku luguudo oluggaddwa mu Kisenyi ne balangira bayinginiya n’abategekera ekibuga ate okufuuka omuziziko mu nkulaakulana y’ekibuga.
Abatuuze bayomba nti abaserikale ba KCCA abakwasisa amateeka baagenda mu Kisenyi ne bamenya n’okugoba abasuubuzi abakolera mu luguudo luno kyokka bwe batuuka ku bbaati erizibye ekkubo ne libalema okumenya ekkubo liggulwe.
Ekkubo lino liva ku luguudo olunene olwa Mmengo Hill Road ne liyita mu bifo ebitunda ebyuma ebikadde okugatta ku bizimbe bya Nakayiza mu Kisenyi. Ekiseera kino terigguka kuyisa mmotoka lyazibibwa nga kigambibwa nti omugagga alizimbamu.
Ssentebe w’ekyalo ekiyitibwa Mbiro Zooni omusangibwa ekkubo lino Matilda Katabalwa yagambye nti yeewunya aba KCCA bye bakola mu kibuga. “ Buli omu amanyi era lipooti zaafuluma nga ekkubo lyeraga lyokka, kyokka KCCA eremeddwa okuligyamu ebbaati lye baalikubako liggulwe,” Katabalwa bwe yagambye.
Yategeezezza nti yawandiika ebbaluwa nga October /22 /2019 ng’ategeeza buli omugagga alina poloti ku bulooka 12 eyayingira mu kkubo n’okulissaamu ebintu aliggule.
Ku bbaluwa kwaliko abagagga okuli; Muhammed Bunyenyezi owa poloti 477, Hajj Ssekandi owa poloti 478, Hajj Muhammed Katimbo [omugenzi] owa poloti 479- 480, Yahaya 503 -504, Mw. Kayondo owa poloti 507, Festo Kasajja owa poloti 505 -506, Mw. Sserwanga 501 n’abalala.
Muky. Katabalwa yagambye nti KCCA yagiwa ebbaluwa era abagagga bangi ne beerula ekkubo mu poloti zaabwe kyokka kati ekizibu kisigadde ku poloti emu eya ffamire y’omugenzi Katimbo ezimbibwamu abaana kati “ ekkubo lya buli muntu naye lwaki aba KCCA bekkiriranya tebaliggula ate nga mu poloti endala
lyasendebwa dda?
Yeewuunyizza nti aba KCCA okuli bayinginira n’abategekera ekibuga bazze bawa ebiragiro okuggula ekkubo lino kyokka ekinene abaserikale
kye baakola, kyali kumenya n’okugoba abasuubuzi bamufuna mpola abaali bakolera mu kitundu , kyokka ne balekawo, ebbaati erizibye ekkubo era likyaliwo.
Aba KCCA baapunta ekkubo lino ne basanga ng’ekitundu ekimu ku bazimba bayingidde mu kkubo.
Omutuuze Festo yawandiikira minisita wa Kampala Hajjat Minsa Kabanda ku ffamire ya Katimbo eggadde ekkubo n’amusaba liggulwe.
Yagambye nti ba yinginiya ba KCCA ekibalemesezza okuggula ekkubo eryo, abalizimbamu baasaba nti bagenda kuliteeka waggulu ku kizimbe nga wansi eriyo ebisenge ate nga waggulu ekkubo liyitako era nti weeriri.
Wabula kino kitiisizza aba LC n’abatuuze ne basaba KCCA eveeyo erung’amye oba ekkubo eryo basazeewo liggalwe. Ebbaluwa ezizze ziwandiikibwa abatuuze ku kkubo lino eri KCCA ziraga nti ekifo mweriri ligenda kuyamba ku kumalawo obulippagano ate ligenda kuyitako mmotoka nnenne omuli FUSO ezitisse kasooli, ebijanjaalo n’ebirime ebirala.