KCCA egobye ababadde batundira ku nguudo

EKITONGOLE kya KCCA kisindise abaserikale baakyo ne bagoba abatembeeyi ababadde bayiye emmaali yaabwe ku mabbali g’enguudo ne babalagira okuddayo gye babadde bakolera.

Abaserikale ba KCCA nga bawamba emmaaii y’abasuubuzi.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

EKITONGOLE kya KCCA kisindise abaserikale baakyo ne bagoba abatembeeyi ababadde bayiye emmaali yaabwe ku mabbali g’enguudo ne babalagira okuddayo gye babadde bakolera.
Kino kyaddiridde abatembeeyi okuwamba enguudo ez’enjawulo ne bayiwako emmaali ekiviiriddeko omujjuzo n’omugotteko ku nguudo ez’omu Kampala.
David Ojur, eyakulembeddemu abaserikale ba KCCA yagambye nti abatembeeyi abaayiye emmaali ku nguudo baviiriddeko abantu abatambuza ebigere okubulwa we bayita nga kino kibadde nnyo ku Luwum Street ne wakati okuva ku kizimbe kya Qualicell okutuuka ku Mini Price.
Yagambye nti abamu baavudde mu butale n’amaduuka gye baabadde bakolera ne beeyiwa ku nguudo ekintu ekitasobola kukkirizibwa era balina okuddayo gye babadde bakolera.
Yategeezezza nti abatambuza ebigere balina okubaako we bayita kyokka abamu babadde beezooba n’abatembeeyi ababalumiriza okulinnya emmaali yaabwe ku mulango oguyingira mu Kikuubo ne balemesa mmotoka ezireese ebyamaguzi okuyingira.
Yagambye nti buli omu alina okuddayo gy’abadde akolera naddala abatembeeyi abaasazeewo okutundira mu maaso g’amaduuka ekiremesezza abagakoleramu okufuna bakasitoma so nga basasula layisinsi ate ng’abatembeeyi we bakolera balekawo kasasiro.