Mmotoka egoyezza 3 e Maya ku lw’e Masaka
Dec 13, 2023
Kigambibwa nti entabwe evudde ku ddereeva wa Sinotruck nnamba UBM 710 M abadde avugisa ekimama bwe yayagadde okuyisa emmotoka n’emulemerera n’ekyaddiridde kuyingirira mmotoka nnamba UBP 536 D
By Denis Kizito
Journalist @New Vision
Abantu basatu bafiiridde mu kabenje ddekabusa akagudde ku luguudo lw’e Maya okudda e Masaka. Abafudde kubaddeko Waliya Namayanja 12, Sharif Bukenya muganda we kw’ossa ne Muhammad Tulyagi abadde abavuga.
Abakungubazi Nga Bali Mu Maka Ga Banadda Eyafiriiddwa Abaana Ababiri Mu Kabenje Kano.
Akabenje kano kaabaddewo ku ssaawa 5:00 mu kiro ekikeesezza leero ku Lwokusatu ng’entabwe evudde ku ddereeva wa Sinotruck nnamba UBM 710 M abadde avugisa ekimama bwe yayagadde okuyisa emmotoka n’emulemerera n’ekyaddiridde kuyingirira mmotoka nnamba UBP 536 D era bonna ne bafiiramu.
Ronald Kazibwe, omu ku baatuseeko mu kifo awaagudde enjega eno ategeezezza Bukedde nti akafo abantu bano we baafiriidde kafuukidde ddala kattiro nti era buli luvannyuma lw’ennaku bbiri wagwawo akabenje nga kino akitadde ku baddereeva b’emmotoka abavugisa ekimama bw’atyo n’asaba oluguudo luno baluteekemu obugulumo kuba lufuuse lwa bulabe ddala.
Sinotruck Eyakoze Akabenje N'etta Abantu 3 Ku Lw'e Maya.
Vicenti Kitengejja, abadde abeera n’abagenzi ategeezezza nti yasiibye ne banne bano nga bakola emirimu nti wabula ku ssaawa nga 12:00 ez’akawungeezi kitaabwe ,Banadda Galiwango yakubye essimu ng’abategeeza okwetegeka nti kuba yabadde agenda kubasindikira emmotoka ebatwale e Bulemeezi gye yabadde basobole okuziika ow’oluganda lwabwe eyafudde.
Kitengejja ategeezezza nti ku ssaawa 5:00 ez’ekiro mmotoka yatuuse awaka n’eteekamu abaana bano ne bagenda nti wabula tewaayise na ddakiika 20 nga babakubira essimu nti bafiriidde mu kabenje.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigyire ategeezezza nti mu kiseera kino bali ku muyiggo gwa ddereeva wa sinotruck eyakoze akabenje kano n’adduka n’asaba abavuzi b’ebidduka okwewala okuvugisa endiima naddala mu biseera bye tugendamu eby’ennaku enkulu.
No Comment