Gavumenti ya Kuwait enoonya ffamire z'Abannayuganda abaggyiiridde mu muliro ebaliyirire
Jun 10, 2025
GAVUMENTI ya Kuwait etaddewo akakiiko k’abakugu okunoonenyereza ku nnabbambula w’omuliro omwafiiridde Bannayuganda 6 nga lipoota yaako kw’egenda okusinziira okuliyirira buli ffamire eyafiiriddwa omuntu.
By Stuart Yiga
Journalist @New Vision
GAVUMENTI ya Kuwait etaddewo akakiiko k’abakugu okunoonenyereza ku nnabbambula w’omuliro omwafiiridde Bannayuganda 6 nga lipoota yaako kw’egenda okusinziira okuliyirira buli ffamire eyafiiriddwa omuntu.
Ebimotoka Bya Bazinyamwoto Nga Birwana Okuzikiza Omuliro Ku Kizimbe Ekyayidde.
Gavana w’essaza ly’e Farwaniya ewaabadde enjega eno, Sheikh Alhbi Al Nasser yataddewo akakiiko k’abantu 7 okumuwa mu bwangu lipoota enzijuvu Gavumenti kw’egenda okusinziira okusalawo ku bintu bingi omuli ne ssente ezinaaweebwa buli ffamire y’omuntu eyafudde.
Bino biddiridde Bannayuganda 6: Gitta Wilberforce, Fred Ndawula, Esau Gaganga, Ian Jonathan Musiime, Harold Kafeero ne Hudson Kikomeko okufa mu ntiisa ekizimbe kya kalina ekya Riggae Building kwe baabadde basula bwe kyakutte omuliro ku mwaliiro ogwokutaano n’ogwomukaaga ne basirikka.
Ian Jonathan Musiime yafudde.
Ensonda mu ofiisi ya Gavana w’e Farwaniya zaategeezezza abaamawulire aga Arab News nti ssente Gavumenti ya Kuwait z’esuubirwa okuwa buli famire y’abaafudde tezijja kukka wansi wa doola 15,000 (mu za Uganda obukadde 55).
EBY’OKUZZA EMIRAMBO MU UGANDA BIKYALI BIWANVU
Enteekateeka ez’okuzza emirambo gikyali mpanvu oluvannyuma olw’emitendera Gavumenti ya Kuwait gy’etaddewo.
Akulira ebyokwerinda mu ssaza ly’e Farwaniya, Brig. Mohammed Mutlaq Al Mutairi yategeezezza abaamawulire ba Arab Times nti gavumenti yaabwe eri mu nteeseganya n’ekitebe kya Uganda mu Saudi Arabia ekitwala ne Kuwait okulaba engeri bwe bafuna famire z’abagenzi okubaggyako DNA basobole okwawula emirambo gya
Bannayuganda.
Ekizimbe Ekyakutte Omuliro Bannayuganda Mwe Baabadde
Akulira ekibiina omwegattira Bannayuganda abakuba ekyeyo e Kuwait, Mariam Namutebi, yategeezezza Bukedde ku ssimu yannyonnyodde nti bakitegeddeko nti emirabo 2 egya Bannayuganda gyayokeddewa bubi nnyo
nga kikyali kizibu okugwawula kuba gyafuuse bisiriiza wamu n’ogw’Omuyindi.
Kigambibwa nti abana emirambo gyabwe giri yadde yadde kuba bo bafiira mu malwaliro ddwaaliro erya Farwaniya Hospital.
Esawo Gaganga yafudde.
BALABUDDE KU BAFEERE
Kigambibwa nti waliwo abakujjukujju ababadde batandise okuggya ssente ku ba famire z’abagenzi eziri wakati w’obukadde obuna n’obutaano nga babasuubizza okubayamba okuzza ebisigalira by’abantu baabwe.
Wabula Namutebi agamba nti kino kikolebwa mu bukyamu kuba bali mu nteeseganya n’aba kkampuni ebadde akozesa abagenzi wamu ne Gavumenti, okulaba nga buli kimu kitambula wakati mu kugoberera amateeka.
Ahmada Taika yabadde mu mbeera mbi kyokka yamaze n'afa.
Yagambye nti ekiseera ky’okuzza emirambo bwe kinaaba kituuse, gijja kuggyibwa mu ggwanika ly’e Dhagij gitwalibwe mu ly’e Subhan, awakuumirwa emirambo egigenda okutwalibwa mu nsi endala.
Ekirala ofiisi z’ekitebe kya Uganda nazo zikyali nzigale olw’ensonga nti abazikolamu baabadde bagenze mu ggandaalo.
No Comment