Abadde afera abantu okubatwala ebweru yeesabidde bamusibe emyaka esatu

Mar 26, 2024

OMULAMUZI wa kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, Adams Byarugaba asindise omusajja ku meere  e Luzira amaleyo emyaka esatu nga bw'alimira Gavumenti oluvannyuma lw'okusingisibwa ogw'okufuna eza ba nkubakye ezisoba mu bukadde 200.

By Peter Ssuuna
Journalist @New Vision

OMULAMUZI wa kkooti ya Nateete Lubaga e Mengo, Adams Byarugaba asindise omusajja ku meere  e Luzira amaleyo emyaka esatu nga bw'alimira Gavumenti oluvannyuma lw'okusingisibwa ogw'okufuna eza ba nkubakye ezisoba mu bukadde 200.

 
Kasim Ssekanjako oluusi yeeyita Muhammad 48, mutuuze w’e Nakitokolo e Nsangi mu Wakiso nga ye nannyini kkampuni ya Confab International General Trading etwala abantu ebweru y'abadde avunaanibwa emisango 116 nga gyonna gya kufera kutwala bantu kyeyo mu ggwanga lya Kuwait.
 
Okusibwa, kiddiridde ono okwekuba mu kifuba n'akkiriza nga bwe yabafera era n'ateesa ne Gavumenti mu nkola ya 'Plea Bargain' ne yeesabira ekibonerezo asibwe emyaka ekiresse be yabba nga beemulungunya ku ky'okufiirwa ensimbi zaabwe mu ngeri bw'etyo.
 
Kigambibwa nti, Ssekanjako wakati wa October 2022 ne July 2023 e Nateete mu Lubaga, yafuna ssente okuva ku bavubuka ab’enjawulo ng’abasuubizza okubatwala mu Kuwait okwenogera ku ssente enzungu kyokka oluvannyuma n’abeefuulira n’abulawo ate nga ne ku kyeyo mpaawo gw’atutte.
 
Okusinziira ku ludda oluwaabi olwakulembeddwamu Caroline Mpumwire, ono yaggya obukadde 6,100,000 okuva ku Milton Marahi, Ayub Geri, 6,200,000, Isamail Semuyaba 6,000,000, Jesca Nyamayizi 5,500,000, Assadu Ssebuwufu 3,420,000, Noor Nansinkombi 4,000,000, Joseph Ssebandeke 5,230,000, Abdu Ntege 5,850,000 n’abalala abasoba mu 100 abaaloopa omusango ku Poliisi e Nateete Ssekanjako n’aggulwako gwa kufuna ssente mu lukujukujju ku CRB; 681/2023.
 
Ssekanjako emisango gyonna yasooka ku gyegaana nga bw'asaba okweyimirirwa naye ng'agaanibwa okutuusa bw'atendewaliddwa n'akkiriza era n'asalirwa.
 
Omulamuzi Byarugaba yamuwadde kya kusibwa myaka esatu mu nkomyo kyokka n'assibwako akakwakkulizo k'okusasula be yafera obukadde 250 bw'aliba avudde mu kkomera.
 
Abawaabi baasoose kulabika ng'abatamatidde na kya kkooti kye yasazeewo kyokka oluvannyuma baasomeseddwa ku nkola y'amateeka ne bakkiriza olwo ne badda awaka.
Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});