Minisita Kasolo ne Kusaasira battunse mu z'okuzina 'ppaka chini' e Kyazanga
Jun 10, 2025
Minisita wa Micro Finance, agaba ssente z'emyooga Haruna Kasolo attunse n'omuyimbi Catherine Kusasira okuzina ga pakakini katono Kusasira alemererwe okuva wansi.
By Joseph Mutebi
Journalist @New Vision
Minisita wa Micro Finance, agaba ssente z'emyooga Haruna Kasolo attunse n'omuyimbi Catherine Kusasira okuzina ga pakakini katono Kusasira alemererwe okuva wansi.
Kusasira olwalinnye ku siteegi ku mukolo gwa "Buganda Ku Museveni" ababaka ba NRM abali mu Kabondo ka Buganda gwe baabaddeko e Kyazanga ne batandika okusitukiramu okuzina.
Abantu Nga Bafa Enseko Kata Bagwa Eri
Omukolo guno gwategekeddwa omubaka wa Bukoto West mu Palament mu disitulikiti y'e Lwengo Muhammmad Ssentayi nga bayongerayo kaweefube waabwe okulaba nga baddamu okusakira Museveni obuwagizi mu bitundu bya Buganda.
Ababaka baasitukiddemu amangu ago Kusasira nga yaakalinya ku siteegi olwo Kasolo n’akwata omunyigo Bannakyazanga abaabadde bakung’anidde ku kisaawe kya Kalule ne bafa essanyu.
Minisita Kasolo Ng'attunka Ne Kusaasira
Bazzeeko kuzina pakakini era Kusasira eyabadde yeekapise akapale aka jjiini ka lumima nga yenna asibye ebbina n’assa abantu enseko.
No Comment