Olukung’aana lwa NAM lugguddwaawo leero mu butongole
Jan 15, 2024
Minisita Odong akubirizza amawanga ageegattira mu mukago gwa NAM okubeera obumu okuvvuunuka ebizibu ebigasoomooza
By Teopista Nakamya
Journalist @New Vision
OLUKUNG’AANA lw'amawanga agatalina kyekubira (Non Alignment Movement ) lugguddwawo mu butongole.
Minisita w'ensonga z’ebweru w’eggwanga (foreign affairs) mu ggwanga, Jeje Odong asabye amawanga gonna agali mu lubu luno essira okulissa mu kutema empenda ku ngeri gye bayinza okuvvuunukamu okusoomoozebwa kwe basanga.
Jeje Odong, minisita w'ensonga z'ebweru w'eggwanga.
Amabanja, okukaluubizibwa okufuna ssente okwekulaakulanya, entalo ezigenda maaso mu mawanga agamu, enjala, ebbula ly'emirimu, enkyukakyuka mu mbeera y'obutonde, ssaako endwadde ezigwawo nga tebazeetegekedde bwe bimu ku bisoomooza ebyanokoddwayo.
Bw'abadde ayaniriza abagenyi mu lukung’aana luno ku Speke Resort & Convention Centre e Munyonyo, yeekokodde amabanja agabatudde mu bulago naddala amawanga agakyakula n’asaba ebizibu ebyo bisalirwe amagezi bunnambiro mu ngeri ya agali awamu.
Odongo era asabye abakulembeze b'amawanga okwongera amaanyi mu kulwanyisa ebikolwa eby'obutujju okukakasa emirembe eri bannansi baabwe.
Ono abaanirizza mu Uganda ekkulu lya Afirika n'abakalaatira okukozesa omukisa guno okulambula ekibuga Kampala n'ebitundu ebirala byonna okwetooloola eggwanga.
Oluvannyuma abakulu bano batandise okweyanjula era ne batendereza Uganda olw’okubeera eggwanga eririna omukwano ogw'ekimmemmente eri abagenyi .
Okusinziira ku Odongo, luno olukung’aana lwa mulundi gwa 19 okuva lwe baakitandika mu 1961 era nga lulimu amawanga 120, ebitongole ebyekenneenya ensonga 10 n'amawanga amalala 18 agazirondoola.
Agamu ku mawanga agali wansi wa NAM kuliko Kenya, Namibia, Zambia, Eritrea, Liberia, Barbados, Grenada, Guyana, Botswana, Iran, Iraq, Jordan, Kuwait n'amalala. Lwakukomekkerezebwa nga January 20, omwezi guno ate olwa G77 t China lukwajje.
No Comment