Bakuutidde abazadde okukuliza abaana mu ddiini yaabwe
ABAANA abasukka 50 be babatiiziddwa ku lutikko y"omutukuvu Makko e Luweero wakati mu kusiima bazadde baabwe okubaleeta mu kkanisa ne basabibwa kugenda mu maaso n"okubakuliza mu mpisa n" eddiini lwe bajja okusobola okwang'anga ensi ejjudde ebisomooza.
Bakuutidde abazadde okukuliza abaana mu ddiini yaabwe
By Samuel Kanyike
Journalists @New Vision
ABAANA abasukka 50 be babatiiziddwa ku lutikko y"omutukuvu Makko e Luweero wakati mu kusiima bazadde baabwe okubaleeta mu kkanisa ne basabibwa kugenda mu maaso n"okubakuliza mumpisa n" eddiini lwe bajja okusobola okwanganga ensi ejjudde ebisomooza.
Ddiini wa lutikko eno Can Fred Kabuye bw'abadde abatiza abaana bano asabye abazadde n"ababeeyimiridde obutatwala kintu kino nga musono wabula babalondoole okulaba nga banywerera mu ddiini yaabwe.
Asabye abazadde okukuuma obulungi abaana mu luwummula ekiseera ky"okuddayo ku masomero kibasange nga bali mu mbeera nnungi.