Aba Afrigo Band babinusizza ab'e Mukono ne babayingiza mu mwaka omupya 2024
Jan 02, 2024
Abadigize mu kibuga Mukono baabinuse masejjere ng’abayimbi okuva mu Afrigo Band babayisa mu mwaka n’okubayingiza mu mwaka omupya ogwa 2024.

NewVision Reporter
@NewVision
Abadigize mu kibuga Mukono baabinuse masejjere ng’abayimbi okuva mu Afrigo Band babayisa mu mwaka n’okubayingiza mu mwaka omupya ogwa 2024.
Abayimbi okutandika ne Moses Matovu, Joanita Kawalya, Racheal Magoola, Rud Boy Divo n’abalala be baasuzizza ab’e Mukono nga babinuka amasejjere nga we zaaweredde essaawa omukaaga ogw’ekiro ate ‘fireworks’ ne zitandika olwo enduulu n’etta abalabi n’ab’obusimu ne babujjayo okwekwatira ku bifaananyi.
Abadigize mu kibuga Mukono baabinuse masejjere ng’abayimbi okuva mu Afrigo Band babayisa mu mwaka n’okubayingiza mu mwaka omupya ogwa 2024.
Racheal Magoola ng'ayimba ku Colline Hotel e Mukono n'aba Afrigo Band bayisa abadigize mu mwaka.
Mu bamu ku badigize mwe mwabadde abagagga abali mu kibiina kya Rotary Club of Mukono nga bano aba Afrigo Band be baasinze okubatwalayo.
Olwaweze ssaawa mukaaga ‘fireworks’ ne zitandika olwo bbo aba Afrigo Band ne bannyuka, omuyimbi Big Eye n’abakwatamu ne zidda okunywa.
Big Eye yabakubye luyimba ku luyimba n’abannyuka ssaawa nga musanvu ogw’e kiro.
Big Eye ng'ayimba ku Colline Hotel e Mukono oluvannyuma lw'okuyingira mu mwaka omupya.
No Comment