Sheebah ne Shakira Shakira bacamudde ab'e Kyengera ku lusooka omwaka
Jan 02, 2024
Abayimbi; Shakira Shakira ne Sheebah katono bakutule abali ba ssente ebiwato e Kyengera olw’omuziki gwe baabakubye ku lusooka omwaka

NewVision Reporter
@NewVision
Abayimbi; Shakira Shakira ne Sheebah katono bakutule abali ba ssente ebiwato e Kyengera olw’omuziki gwe baabakubye ku lusooka omwaka ne bawunga ng’endongo efuuse ekidongo!
Shakira Shakira Ku Siteegi Ng'ali Bulala.
Bano baabadde ku Rose Gardens era nga Shakira Shakira ye yasoose ku siteegi ku ssaawa 5:00 ez’ekiro olwo abadigize ne basituka mu butebe mwe baabadde ne basala ddansi nga n’abamu bakira bawogganira waggulu nti “ddala abaafa baapapa”. Ono yabadde ‘yeesaze’ ka toopu ne ka ‘legging akaalabise nga ke yeeyisizzaako obweyisa ku mubiri!
Gwabadde guwera ssaawa 7:00 ogw’ekiro olwo nnannyini mazina n’eddoboozi, mwana muwala Sheebah n’alinnya ku siteegi enduulu n’eraya.
Abakyala Abamu Abaacamuddwa Nga Bawanise Emikono.
Abawagizi be abaabadde bamwesunze okufa katono abafuukuule n’amazina anti obwedda atiguka ku siteegi nga yeefuukula nga atalina magumba mu kiwato!
Ono yalese abadigize abasinga bonna bamunyeenyeza mitwe nga embuzi etenda enkuba olwa ‘vayibu’ gye yabawadde ng’alinnye ku siteegi.
No Comment