Kkooti eragidde Bruno K asasulwe obukadde 130 olw'okuggya ennyimba ze ku Youtube
Apr 04, 2025
Bruno Kiggundu amanyiddwa nga Bruno K yatwala kkampuni ya Black Market Records mu kkooti ng'abavunaana okukozesa ennyimba ze nga tebamusasula ate ne bakozesa ebiwandiiko ebikyamu okuggalawo omukutu gwe ogwa YouTube kwe yali azitadde.

NewVision Reporter
@NewVision
Omuyimbi Bruno K agudde mu bintu, kkooti eragidde asasulwe obukadde 130 mu nnyimba ze olw'okuziggya Ku YouTube mu bumenyi bw'amateeka.
Bruno Kiggundu amanyiddwa nga Bruno K yatwala kkampuni ya Black Market Records mu kkooti ng'abavunaana okukozesa ennyimba ze nga tebamusasula ate ne bakozesa ebiwandiiko ebikyamu okuggalawo omukutu gwe ogwa YouTube kwe yali azitadde.
Bruno K Bw'afaanana.
Ebiwandiiko bya kkooti biraga nti Bruno K yawawaabira Black Market Record Entertainment, Singleton Cedrick Lycheen ,Shadrack Shahaf Kisame ne Black Market Media olumu eyitibwa Black Market Records.
Mu mpaaba ye, Bruno K yategeeza kkooti nti mu 2020 yaatukirirwa Singleton ne Kisame ne bamuperereza okwegatta Ku kkampuni ya Black Market Records babeere nga bamutwala mu b'yokuyimba era ne bateeka omukono Ku ndagaano ekkiriza nti Bruno K wansi waabwe ajja kuyimba nga bamuteekamu ssente okumala omwaka mulamba era nga be bavunaanyizibwa ku nnyimba ze zonna.
Yayongerako nti kyokka ebbanga lye yaliyo, yayimbayo akayimba kamu ne beekyanga era omwaka bwe gwaggwako n'abategeeza nti tajja kuzza buggya ndagaano nabo. Awo Bruno yatandika okuyimba bwannamunigina ngera ennyimba ze aziteeka ku mukutu gwe ogwa YouTube.
Ekyewuunyisa Bruno, aba Black Market baalopa ennyimba ze ku YouTube era abaddukanya omukutu ogwo ne baggala akawunti ya Bruno n'abeera nga takyafuna wadde ennusu mu nnyimba ze.
Mu kiseera ekyo Bruno agamba nti bano baali bakozesa ennyimba ze ku mukutu gwabwe naye baamusasulako emitwalo ebiri gyokka omulundi gumu, nga ssente ze yali afunye.
Bruno yatandika okunoonyereza ekyaviirako abakulu bano okuloopa omukutu gwe ,yazuula nga bano baakozesa ebiwandiiko bye bagamba nti olukusa baaluggya mu kkooti y'ebyemisolo e Kenya,gye yabuuza oluvanyuma kkooti eyo ne yeegaana okubawa ebiwandiiko ebyo nga ffayiro yomusango kwebeesigama teriiyo mu kkooti zonna e Kenya.
Oluvannyuma lw'okufuna obukakafu obwo Bruno yawandiikira YouTube n'asobola okuddizibwa omukutu gwe.
Kyokka yabuulira kkooti nti yafuna okukosebwa okw'amaanyi n'okuswala okuva mu bawagizi be nga n'abamu baamuwandiikira mu busungu olw'obutasobola kufuna muziki gwe Ku YouTube.
Bruno ng'ayita mu munnamateeka we Ferdinand Tuhaise yagamba nti era yakizuula nti kkampuni yali tewandiisiddwa mu mateeka okuddukanya emirimu gyayo ng abalinyirira eddembe lye ery'obwannanyini ku biyiiye bye.
Kyokka Black Market yakkiriza okukola endagaano ne Bruno K wabula bagamba nti tewali kakwakkulizo konna ke baamenya ku ndagaano gye baakola era Bruno era yasasulwa bulungi ssente ze eziva mu nnyimba Ku YouTube.
Omulamuzi Patricia Mutesi mu nsala ye yeesigamye ku bujulizi obwaleetebwa mu kkooti nazuula nti Bruno yalina endagaano ne Black Marker Records era yamenyebwa ne balinnyirira eddembe lye ery'obwannanyini ku biyiiye bye (copyright).
Kkooti yazudde nti Black Market Records yamenya amateeka okuggyayo ennyimba za Bruno n'erinnyirira eddembe lye nga yeesigama Ku biwandiiko bya kkooti ebijingirire ng'ate nayo temanyiddwa mu maateka.
Bano era kkooti yabalagidde obutaddamu kukwata ku nnyimba Bruno K n'ebalagira okusasula Bruno obukadde 100 olw'ebyo bye yayitamu ng'omuntu ate obukadde 30 olw'ennyimba ze n'alagira basseeko n'amagoba aga buli mwaka okuba lwe bazza omusango.
Kyokka Black Market yategeeza nga bwe yasasula Bruno obukadde 12 wabula kkooti yakakasizzaako obukadde 2 n'emitwalo 78 kitundu era baabalagidde bazisale ku ze baalagiddwa okuwa Bruno. Kkooti era yalagidde Bruno asasulwe ssente zonna z'asasaanyizza mu musango guno.
No Comment