Bruno Betty owa Bukedde TV1 awangudde omumbejja

Jan 20, 2024

OMUKOZI wa Bukedde TV1, owa pulogulaamu y’Akayisanyo, Bruno Sserunkuuma amanyiddwa nga Bruno Betty, acamudde ekyalo Buyoga mu Buddu, kabiite we Omumbejja Teddy Nassolo, bw'abadde amwanjula mu bakadde be

NewVision Reporter
@NewVision

OMUKOZI wa Bukedde TV1, owa pulogulaamu y’Akayisanyo, Bruno Sserunkuuma amanyiddwa nga Bruno Betty, acamudde ekyalo Buyoga mu Buddu, kabiite we Omumbejja Teddy Nassolo, bw'abadde amwanjula mu bakadde be ku mukolo ogwabadde makunale.

Bruno Betty Ng’akoona Ddansi. Yawerekeddwa Patrick Kibirango, Lawrence Mukasa (owookubiri Ku Kkono) Ne Mbaziira Tonny (ku Kkono).

Bruno Betty Ng’akoona Ddansi. Yawerekeddwa Patrick Kibirango, Lawrence Mukasa (owookubiri Ku Kkono) Ne Mbaziira Tonny (ku Kkono).

Zaagenze okuwera ssaawa 6:00 ez’omu ttuntu nga Bruno n’abantu abaabadde bamuwerekeddeko nga bataka e Buyoga.  

Olwamaze okubagema ne batuula mu weema olwo abaana ba taata ne batandika okubuuza ku bantu nga Ssuuna Ben ne Mbaziira Tonny bwe babatabulira ebinyaanyanyaanya obwedda kwe bajjira.

Abamu Ku Bagenyi Abayite Abaabadde Ku Mukolo E Buyoga

Abamu Ku Bagenyi Abayite Abaabadde Ku Mukolo E Buyoga

Oluvannyuma ssenga w’omuwala okuggyayo Bruno n’amwambaza ekimuli ekimwawula ku balala yazzeeyo mu nnyumba n’akomawo n’ekyebbeeyi kya Bruno Betty, nga omumbejja Nnassolo yazze aboobedde wamma Bruno n’afa amabbabbanyi ng’eno enduulu ey’oluleekereeke bw’eva mu baabadde bamuwerekeddeko.

Bruno yatonedde bazadde ba Nnassolo ebirabo bingi ddala. Yanaanise Nnassolo akaweta ka nkusibidde awo okutuusa mu November lwe yasuubizza okugattibwa mu bufumbo obutukuvu. Abayimbi Fiona ne Betina Namukasa be bamu ku baasanyusizza abagenyi. 

Kawuki Tichaticha Aba Bukedde Tv1 Nabo Baabaddeyo.

Kawuki Tichaticha Aba Bukedde Tv1 Nabo Baabaddeyo.

Abaawerekedde Bruno kwabaddeko ddayirekita wa B.Clara .H property services, Herbert Ssenyonga. Tonny Tebakyayika owa Tebakyayika Paints, aba supeeya e Wakisekka okwabadde, Sylvia Auto Part, Young Auto Parts, omusuubuzi w’engatto D2K, bannakatemba abaakulembeddwa Jean Nakachwa ne bakozi banne mu Vision Group etwala ne Bukedde.

 

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});