Omulwanirizi w'eddembe omutemu amufumise ekiso ne kisigala mu lubuto

Jan 03, 2024

Omulwanirizi w'eddembe era omukozi mu Coloured Voices Media Foundation e Lukuli Buziga, awonedde watono okuttibwa ,omutemu bw'amufumise ekiso ne kisigala mu lubuto n'adduka.

NewVision Reporter
@NewVision

Bya Godfrey Kigobero

Omulwanirizi w'eddembe era omukozi mu Coloured Voices Media Foundation e Lukuli Buziga, awonedde watono okuttibwa ,omutemu bw'amufumise ekiso ne kisigala mu lubuto n'adduka.

Steven Kabuye 25, omutuuze w'e Makandwa mu muluka gw'e Lumuli okumpi ne Kajjansi ku lw'e Ntebe, okumufumbikiriza abadde agenda ku mulimu leero ku makya.

Kigambibwa nti abantu babiri ababadde batambulira ku pikipiki, bamufumbikirizza omu kwe kumufumita ekiso mu lubuto ne kisigalamu.

Mu.kiseera kino ali mu ddwaaliro lya Namulundu Medical  Center  e Bwebajja gye bamulongooserezza ne bamuggyamu ekiso.

Omwogezi wa poliisi mu Kampala, Patrick Onyango agambye nti , agezezzaako okudduka ne bamugoba ne bamufumita nti n'oluvannyuma omusajja n'abuukira pikipiki ne babulawo.

Agasseeko nti Kabuye agamba nti aludde ng'afuna okutiisibwatiisibwa okuva mu March w'omwaka oguwedde okutuusa lwe yasalawo okugendako ebweru mu June, era abadde yakomawo mu December okulya ennaku enkulu.

Related Articles

No Comment


(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});