Eyali afulumira mu kyenda Bukedde n'emuwandiikako afunye abadduukirize
Apr 05, 2025
OMWANA eyali afulumira mu kyenda wabweru w'olubuto bamulongosezza abazadde ne basiima bukedde olw'omuwandiikako abazira kisa ne bamuddukirira

NewVision Reporter
@NewVision
OMWANA eyali afulumira mu kyenda wabweru w'olubuto bamulongosezza abazadde ne basiima bukedde olw'omuwandiikako abazira kisa ne bamuddukirira
Ruth Namudayi 7 muwala Kaana Namalero 42 ne Toofa Mulembe ab'e Buwesa mugombolola ye Busabi mu muluka gwe Malagha mu disitulikiti Butalejja omwaka oguwedde abaddukira mu bukedde nawandiika ku muwala waabwe eyali afulumira mu kyenda ab'eddwaliro lya Children Surgical Hospital erisangibwa e Ntebbe olwalaba amawulire ne basalawo okulongoosa Namudayi
Namalero maama Namudayi yagambye yesiba ekyenda nga wa wiiki emu bwe yamutwala ku ddwaliro e Mbale abasawo n'ebakifulumya wabwe gy'abadde yeyambibwa ne bamusaba 4500,000/ okumulongoosa ze yali talina okutuusa Moses Lyada omulwanirizi w'eddembe ly'obuntu e Butalejja bwe yamukwasaganya ne Bukedde namuyamba nga kati omwana we ali mbeera nungi.
Moses Lyada yasiimye Bukedde olw'okulumirirwa omuntu wa wansi ku Namulero ne bba tebalina ssente ng'era omwana waabwe teyandifunye mukisa kulongosebwa naye eddwaliro lya Children Surgical Hospital lyamulongoserezza ku bwerere nga maanyi ga Bukedde
Related Articles
No Comment