Emisango gy'okukuma omuliro n'okwokya gyeyongedde - poliisi
Jan 03, 2024
POLIISI egambye nti emisango gy'okukuma omuliro n'okwokya , gyeyongedde nnyo mu kiseera kino era n'alabula abantu okugula ebyuma ebiyamba okuguzikiriza.

NewVision Reporter
@NewVision
Bya Godfrey Kigobero
POLIISI egambye nti emisango gy'okukuma omuliro n'okwokya , gyeyongedde nnyo mu kiseera kino era n'alabula abantu okugula ebyuma ebiyamba okuguzikiriza.
E Kasese, omuliro gwakutte essomero lya Brain stream P/S ku Railway Cell era nga kiteeberezebwa nti waliwo abaabadde emabega w'okulyokya.
E Lamwo mu Parabeke , obusiisiira 57 bwayokeddwa ffamire emu eyabadde yeemulugunya ku muwala waabwe omu , gwe baasiba olw'ettemu, kwe kulumba abaamusibisa ne babakola efujjo. Abantu bana baakwatiddwa n'ente 8 ne zinunulwa.
E Katatenga Kaceera e Rakai, abantu babiri, baafiiridde mu muliro. Guno gwavudde mu sitoowa mwe baabadde batereka amafuta ate ng'eriraanye effumbiro .
Omuliro guno gwabadde mu maka ga Chris Ndugwa 40 era mukyala we Konsira Muhirwa 32 ne muwala waabwe Araish Nakiganda 3, ne bafa.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga , agasseeko nti e Kyampisi Mukono, bakyabuuliriza ku muliro ogwakutte cinema Hall ne gusaanyawo ebintu ebiwerako.
Ayongeddeko nti ne Finance Trust e Jinja nayo yakutte omuliro ebimu ku bintu ne biggya.
No Comment